bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nahum 2
Nahum 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Nineeve, olumbiddwa, ow'okukusaanyawo atuuse, kuuma ekigo kyo, tunuulira ekkubo, weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna.
2
Mukama anaatera okuzzaawo ekitiibwa kya Yakobo, kye kitiibwa kya Isiraeri, abaabazinda kye baali bafeebezza, n'emizabbibu gye bayonoona.
3
Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu, abasserikale be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe ag'ebyuma gaakaayakana ng'omuliro, era n'amafumu gagalulwa n'entiisa.
4
Amagaali g'abalwanyi getawulira mu nguudo z'ekibuga, galabika ng'emimuli egyaka, gamyansa ng'eggulu.
5
Abaduumizi bayitibwa, ne bajja nga batomeragana butomeraganyi. Abalumbi banguwa okutuuka ku bbugwe ow'ekigo, ne bategeka okukiggunda.
6
Enzigi ez'oku migga zigguddwawo, amazzi ne gasaanyawo olubiri.
7
Nnaabakyala n'anyagibwa, n'atwalibwa nga musibe. Abazaana be ne bakaaba ng'amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba byabwe olw'okunakuwala.
8
Abo mu Nineeve bafaanana ng'ekidiba ky'amazzi agakulukuta. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega.
9
Munyage ffeeza, munyage zaabu, eby'obugagga tebiriiko kkomo. Ekibuga kijjudde ebintu, buli kirungi kiri omwo!
10
Nineeve kisaanyiziddwawo, abantu baamu bonna emitima gibeewanise, amaviivi gabakubagana, n'ebiwato bibakankana, era basiiwuse ne mu maaso olw'entiisa.
11
Ekibuga kiri ludda wa ekyali eky'ekitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde?
12
Nineeve yali mpologoma ensajja, buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo, n'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa.
13
Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Ndi mulabe wo, ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abasserikale bo balizikirizibwa n'ekitala, nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3