bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nahum 3
Nahum 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Zikisanze ekibuga ekitemu, ekijjudde obulimba, era ekikubyeko ebintu ebinyage, obunyazi bwakyo tebukoma.
2
Wulira enkoba eziwuuma, ezikuba embalaasi ze bagoba, nga zigenda ziguluba. Wulira zinnamuziga eziyiringita, n'amagaali agabuukabuuka.
3
Abeebagadde embalaasi beetegese okulwana, nga bakutte ebitala ebimasamasa, n'amafumu agamyansa. Abafudde bangi, emirambo mingi nnyo, badduka kwe beekoona!
4
Nineeve kibonerezebwa olw'obwenzi bwakyo, ekyajjula obulogo obuyitirivu, eky'afuga amawanga n'eby'obwenzi bwakyo.
5
Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Ndi mulabe wo ggwe Nineeve, ndikwambula osigale bwereere amawanga gakulabe gakusunge. Obwakabaka bwo bulinyoomebwa mu maaso gaabwe.
6
Era ndikufuula ekyenyinyalwa, era ndikwambula ekitiibwa kyo, era ndikuleka okuba ekyerolerwa.
7
Awo olulituuka bonna abalikutunulako balikwesamba ne bagamba nti, Nineeve kifuuse matongo! Ani anaakikungubagira? Abalikikubagiza baliva wa?
8
Nineeve ggwe osinga Nowamoni, ekibuga ky'e Misiri obulungi? Ekyazimbibwa okumpi n'Omugga Kiyira, nga kyetooloddwa amazzi amangi ku enjuyi zonna. Olukomera lwa kyo teyali nnyanja, era amazzi si ge gaali bbugwe waakyo?
9
Amaanyi gaakyo gaakiri mu Esiyopiya ne Misiri, abe Puti n'ab'e Libya nabo baakiyambanga.
10
Naye era kyatwalibwa, ky'agenda mu buddu; n'abaana baakyo abato batirimbulirwa mu masaŋŋanzira g'enguudo zaakyo. Ab'ebitiibwa n'abakulu baakyo bonna baasibibwa ku njegere, ne bagabanibwa abalabe nga bakubirwa akalulu.
11
Naawe Nineeve olitagatta ng'omutamiivu, oliggwaamu amaanyi. Naawe olinoonya wewekwekera abalabe bo.
12
Ebigo byo byonna biriba ng'emiti emitiini okuli ebibala ebisooka okwengera, bwe ginyeenyezebwa ebibala bikunkumuka, ababyagala ne babirya.
13
Laba, abasserikale bo baliba nga abakazi, tewaliba bataasa nsi yo. Enzigi eza wankaaki ez'ensi yo nziggule eri abalabe bo, n'omuliro gulisaanyawo emikiikiro gy'enzigi zo.
14
Weekimire amazzi, weetegekere okuzingizibwa. Nyweza ebigo byo, samba ebbumba obumbe amatoffaali, ogapange mu kyokero.
15
Tokyalina kya kukola, omuliro gulikwokera eyo, ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera mweyongere obungi ng'enzige, mwale nga kalusejjera.
16
Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, naye kati babuuse ng'enzige ne bagenda.
17
Abakulembeze bo bali ng'enseenene, n'abaduumira eggye lyo bali ng'ebibinja by'enzige ebyekukuma mu bisagazi mu budde obunnyogovu, naye enjuba bw'evaayo zibuuka ne zigenda etemanyiddwa.
18
Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli. abakungu bo ab'ekitiibwa bafudde, abantu bo basaasaanidde ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya.
19
Tewali kya kukkakkanya bulumi bw'owulira, ekiwundu kyo si kya kuwona. Bonna abawulira ebikutuuseeko bakuba bukubi mu ngalo nga basanyuka, kubanga obukambwe bwo tebuliiko gwe bwataliza ennaku zonna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3