bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ruth 2
Ruth 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Era Nawomi yalina muganda wa bba, omusajja ow'amaanyi omugagga, ow'omu nnyumba ya Erimereki; n'erinnya lye Bowaazi.
2
Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” N'amugamba nti, “Genda, mwana wange.”
3
N'agenda, n'ajja n'alonda mu nnimiro abakunguzi we bayise; era olwatuuka n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi, eyali ow'omu kika kya Erimereki.
4
Era, laba, Bowaazi n'ava e Besirekemu n'agamba abakunguzi nti, “Mukama abeere nammwe.” Ne bamuddamu nti, “Mukama akuwe omukisa.”
5
Awo Bowaazi n'agamba omuddu we eyali akunguza abakunguzi nti, “Omuwala ono w'ani?”
6
Omuddu eyali akunguza abakunguzi n'addamu n'ayogera nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyakomawo ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu.
7
Atugambye nti, ‘Mbeegayiridde, nnonde, era nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa;’ awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nnyumba katono.”
8
Awo Bowaazi n'alyoka agamba Luusi nti, “Wulira, mwana wange togendanga kulonda mu nnimiro endala, so tovanga wano, naye obeeranga wano kumpi n'abawala bange.
9
Amaaso go gabe ku nnimiro, gye banaakungulanga, naawe obagobererenga. Sikuutidde balenzi obutakukomangako? Era ennyonta bw'eneekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku ago abalenzi ge basenye.”
10
Awo Luusi n'avuunama amaaso ge, n'akutama, n'amugamba nti, “Kiki ekindabizza ekisa mu maaso go, ggwe okunnekkaanya nze kubanga ndi munnaggwanga?”
11
Bowaazi n'addamu n'amugamba nti, “Bambuulirira ddala byonna bye waakola nnyazaala wo balo kasooka afa, era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko.
12
Mukama akusasule olw'emirimu gyo gyewakola. Mukama Katonda wa Isiraeri gwe weeyuna okukuuma akuwe empeera enzijjuvu.”
13
Luusi n'addamu nti, “Ondaze ekisa Mukama wange; era onsanyusizza kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.”
14
Awo ekiseera eky'okulya bwe kyatuuka, Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Jjangu olye ku mmere okoze ne mu mwenge omukaatuufu.” Luusi n'atuula wamu n'abakunguzi, ne bamuwa sayiri ensiike, n'alya n'akkuta n'alemwa.
15
Awo Luusi bwe yali azzeeyo okulonda ebirimba, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti, “Mumulekenga n'alonda ne mu binywa so temumugananga.
16
Era mumutoolereko ne mu miganda, mugireke, alonde, so temumuwuunako.”
17
Awo n'alonda mu nnimiro okuzibya obudde, n'awuula gye yali alonze, newera nga efa namba eya sayiri.
18
N'agyetikka, n'ayingira mu kibuga; n'alaga nnyazaalawe gyalonze, era n'amuwa ne mmere eyasigalawo ng'amazze okukkuta.
19
Awo nnyazaala we n'amubuuza nti, “Olonze wa leero era okoze wa emirimu? Aweebwe omukisa oyo akusizaako omwoyo.” Luusi n'ategeeza nnyazaala we nti, “Leero nkoze mu nnimiro y'omusajja ayitibwa Bowaazi.”
20
Nawomi n'agamba muka mwana we nti, “Mukama awe omusajja oyo omukisa. Mukama atuukirize by'asuubiza abalamu n'abafu. Omusajja oyo muganda waffe ddala, y'omu ku banunuzi baffe.”
21
Luusi Omumowaabu n'agamba nti, “N'ekirala, aŋŋambye nti, ‘nnondenga Sayiri n'abakozi be, okutuusa amakungula okuggwaako.’ ”
22
Awo Nawomi n'agamba Luusi muka mwana we nti, “Kirungi, mwana wange, obeerenge wamu n'abazaana be, balemenga okukusiŋŋaana mu nnimiro endala yonna.”
23
Awo Luusi n'abeeranga kumpi n'abazaana ba Bowaazi okulondanga okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n'amakungula g'eŋŋaano; n'eyeyongera okubeera ne nnyazaala we.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4