bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ruth 3
Ruth 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n'amugamba nti, “Mwana wange sisaana kukunoonyeza amaka owummule, obe bulungi?
2
Kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro.
3
Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, ogende mu gguuliro; naye teweraga gyali okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa.
4
Awo olunaatuuka bw'anaagalamira n'eyeebaka, wekkaanye ekifo wagalamide, naawe onoyingira n'obikkula ku bigere bye, n'ogalamira awo; naye anaakubuulira bw'onookola.”
5
Luusi n'amuddamu nti, “Byonna by'oyogedde naabikola.”
6
N'agenda mu gguuliro, n'akola byonna nga nnyazaala we bweyamulagira.
7
Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano n'agalamira yeebake. Awo Luusi najja ng'asooba n'abikkula ku bigere bya Bowaazi naye n'agalamira awo.
8
Awo olwatuuka mu ttumbi Bowaazi bweyawawamuka mu ttulo neyeekyusa, naatya bweyategeera nga omukazi agalamidde awali ebigere bye.
9
N'abuuza nti, “Ggwe ani?” Omukazi n'addamu nti, “Nze Luusi, omuzaana wo, kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga gwe mununuzi wange.”
10
Bowaazi n'amugamba nti, “Mukama akuwe omukisa mwana wange, kubanga ku nkomerero olaze obwesigwa bungi mu kika kyaffe, okusinga obwo bwe walaga nnyazaalawo olubereberye; kubanga togoberedde balenzi balala oba baavu oba bagagga.
11
Kale kaakano mwana wange totya; nja kukukolera byonna by'onsabye, kubanga abantu bonna mu kibuga bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.
12
Kya mazima ndi mununuzi wo, naye waliwo ow'oluganda omulala ansinga okuba ow'okumpi.
13
Beera wano ekiro kino, bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ow'oluganda anaakukolera emirimu gy'oluganda; naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, nze ndigikukolera, nga Mukama bw'ali omulamu, weebake obudde bukye.”
14
Luusi ne yeebaka okumpi n'ebigere bye okukeesa obudde. N'asituka nga obudde tebunnalaba bulungi omuntu okwekkaanya munne kubanga Bowaazi yayogera nti, “Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.”
15
Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Ddira omunagiro gwo ogwalirire wansi.” Bowaazi naddira ebigero mukaaga (6) ebya sayiri n'abiyiwaako, n'abimutikka n'amusiibula addeyo mu kibuga.
16
Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti, “Bigenze bitya, mwana wange?” Luusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde.
17
N'amugamba nti, “Ebigero bino omukaaga (6) ebya sayiri yabimpadde n'aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo nga tolina kantu.’ ”
18
Nawomi n'amugamba nti, “Tuula osirike mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo ebyo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamala okutereeza ensonga.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4