bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ruth 4
Ruth 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Awo Bowaazi n'agenda awali omulyango gw'ekibuga awakuŋŋaanirwa n'atuula awo; laba muganda wa Erimereki Bowaazi gwe yayogerako nga yamusinga okuba ow'okumpi n'ayitawo; Bowaazi n'amugamba nti, “Owange, muganda wange! kyama otuule wano.” N'akyama n'atuula.
2
Era Bowaazi n'ayita abakadde b'ekibuga kkumi (10), n'abagamba nti, “Mutuule wano.” Ne batuula.
3
N'agamba muganda w'omukazi nti, “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki.
4
Kale ndowoozeza nga nteekwa okukikutegeezako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Naye bw'oyagala okukinunula, kinunule, naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye; kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira.” N'ayogera nti, “Ndikinunula.”
5
Bowaazi n'agamba nti, “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Luusi, nnamwandu Omumowaabu, okuzaawo obusika bwa bba eyafa.”
6
Ow'oluganda ow'okumpi n'ayogera nti, “Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze, ggwe weetwalire okununula kwange okwo, kubanga nze sijja kukinunula.”
7
Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne, n'ekyo kyabanga bujulirwa mu Isiraeri.
8
Awo ow'oluganda, olw'okumpi n'agamba Bowaazi nti, “ Kyegulire.” N'anaanula engatto ye.
9
Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti, “Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi.
10
Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuzaawo erinnya lya bba eyafa n'obusika bwe bireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye; mmwe muli bajulirwa leero.”
11
Awo abantu bonna n'abakadde b'ekibuga awakuŋŋaanirwa ne bagamba nti, “Ffe bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri; naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu;
12
n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi, Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka.”
13
Awo Bowaazi n'atwala Luusi okuba mukaziwe. Mukama n'awa Luusi omukisa n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi.
14
Abakazi ne bagamba Nawomi nti, “Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri.
15
Mukaamwana wo akwagala, era akukoledde ebirungi ebingi okusinga ebyo abaana omusanvu (7) ab'obulenzi bye bandikukoledde, kaakano akuzaalidde omuzzukulu ow'obulenzi, alikuzzaamu obulamu, n'okukulabirira mu bukadde bwo.”
16
Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we.
17
Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi; oyo ye kitaawe wa Yese azaala Dawudi.
18
Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni;
19
Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu;
20
Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni;
21
Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi;
22
Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4