bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Titus 1
Titus 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okukkiriza kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda,
2
ebyesigamye mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda ow'amazima bwe yasuubiza ng'ebiro eby'emirembe n'emirembe tebinnabaawo;
3
naye mu ntuuko zaabyo yayolesa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri;
4
eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli; ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli.
5
Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga, nga nze bwe nnakulagira;
6
omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu oba abajeemu.
7
Kubanga omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, ng'omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, si wa busungu, si mutamiivu, si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa;
8
naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeefuga;
9
anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okunyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bwabo abagiwakanya.
10
Kubanga eriyo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, era okusingira ddala abo ab'omu bakomole,
11
basaanye okuziyizibwa, kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa.
12
Omu ku bo, era nnabbi waabwe bo, yagamba nti, “Abakuleete balimba ennaku zonna, zensolo embi, ba mululu era bagayaavu.”
13
Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova oteekwa okubanenya n'amaanyi, balyoke babeere mu kukkiriza okutuufu,
14
balekeraawo okuwuliriza enfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyama okuva ku mazima.
15
Eri abalongoofu byonna birongoofu, naye eri abagwagwa n'abatakkiriza tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa.
16
Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3