bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Titus 2
Titus 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Naye ggwe yigirizanga ebisaanira okuyigiriza okw'obulamu.
2
Kubirizanga abasajja abakulu babeerenga bateefu, baabuvunaanyizibwa, bategeevu, abalina okukkiriza, okwagala, era abanywevu.
3
Abakazi abakulu nabo bakubirizenga babeerenga n'empisa ezisaanira mu bantu, nga tebawaayiriza, era nga si batamiivu, naye abayigiriza ebirungi;
4
balyoke batendeke abakazi abato okwagalanga babbaabwe, n'abaana baabwe,
5
era babeerenga bategeevu, nga si benzi, abakola emirimu mu maka gaabwe, ab'ekisa, era abagondera babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa.
6
N'abasajja abavubuka baakubirizenga okubeera abasobola okwefuga mu byonna.
7
Mu bigambo byonna ggwe beera ekyokulabirako ekirungi mu bikolwa, ne mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, obumalirivu,
8
nga buli ky'oyogera tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako.
9
Kubirizanga abaddu okugonderanga bakama baabwe, nga basiimibwanga mu byonna; tebateekwa kuba bajeemu,
10
nga tebabba, naye nga beesigwa ddala mu byonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna.
11
Kubanga ekisa kya Katonda kirabise, nga kireetera abantu bonna obulokozi,
12
nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, tulyoke tubeerenga abateefu, abatuukirivu, era abatya Katonda mu nsi eno,
13
nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
14
eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
15
Yogeranga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3