bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Titus 3
Titus 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okubeera abeetegefu okukola omulimu omulungi,
2
nga teboogera bubi ku muntu yenna, nga beewala okuyomba, abawombeefu, era nga bassaamu ekitiibwa abantu bonna.
3
Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuli baddu ba buli kwegomba okubi, n'ebinyumu ebitali bimu, nga tuli ba ttima era ab'obuggya, nga tukyayibwa abantu era nga tukyawagana ffekka na ffekka.
4
Naye obulungi n'okwagala okw'ekisa okwa Katonda Omulokozi waffe bwe byalabika,
5
n'atulokola, si lwa bikolwa bye twakola mu butuukirivu, wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogwokubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu,
6
gwe yatufukako mu bungi mu Yesu Kristo Omulokozi waffe;
7
tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.
8
Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu:
9
naye weewalenga empaka ez'obusirusiru, enkalala ez'endyo, ennyombo n'okuwakanira amateeka, kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu.
10
Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogwolubereberye n'ogwokubiri, omwewalanga,
11
ng'omanya ng'ali ng'oyo amaze okukyamizibwa era mwonoonyi; nga yeesalira yekka omusango.
12
Bwe ntumanga Atema oba Tukiko gy'oli ofubanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby'obutiti.
13
Fuba okwanguyaako Zeena munnamateeka ne Apolo, laba nga balina byonna bye beetaaga.
14
Era fubisa abantu baffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, baleme okuba nga tebaabala bibala.
15
Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3