bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zephaniah 1
Zephaniah 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Buno bwe bubaka, Mukama bwe yawa Zeffaniya, mutabani wa Kuusi, mutabani wa Gedaliya, mutabani wa Amaliya, mutabani wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda.
2
Bwati bw'ayogera Mukama nti, “Ndizikiririza ddala ebintu byonna okuva ku nsi,
3
abantu bonna n'ensolo, n'ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebyennyanja wamu n'abakola ebibi bonna. Ndizikiririza ddala abantu obutalekaawo n'omu. Nze Mukama nze njogedde.”
4
“Ndibonereza ab'omu Yuda, n'ab'omu Yerusaalemi bonna. Ndizikiriza abasinza Baali abakyasigaddewo mu kifo ekyo era tewalibaawo ajjukira bakabona be.
5
Era ndizikiriza n'abo abalinnya waggulu ku nnyumba ne basinziza enjuba n'omwezi n'emmunyeenye. Ndizikiriza n'abo abasinza Mukama, ate era ne balayira ne katonda Malukamu.
6
Ndizikiriza n'abo abazze emabega obutagoberera Mukama, abatakyanoonyanga Mukama newakubadde okumwebuuzako.”
7
Sirika awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategese ssaddaaka, atukuzizza abagenyi be.
8
Awo ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, “ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka n'abo bonna abambadde ebyambalo binnaggwanga.
9
Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango ne basinza, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe eby'obukambwe n'obulimba.”
10
Bwati bw'ayogera Mukama nti, “ku lunaku luli, walibaawo okukaaba ku mulyango ogw'Ebyennyanja ogw'omu Yerusaalemi, n'okutema emiranga mu kitundu ekiggya eky'ekibuga, n'okubwatuuka okw'amaanyi okuva ku busozi.
11
Mwekabire ko, mmwe abali mu kitundu ekya wansinsi eky'ekibuga, kubanga abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, n'abo abeebinikanga ffeeza bazikiridde.
12
Awo olulituuka mu biro ebyo ndikwata ettaala ne nfuuza Yerusaalemi, era ndibonereza abantu abalowooza nti bali bulungi, abatalina kye beeraliikirira, era abalowooza nti, ‘Mukama taliiko ky'akola, ka kibe kirungi oba kibi.’
13
Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n'ennyumba zaabwe zirifuuka matongo. Weewaawo, balizimba amayumba naye tebaligasulamu, era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa ku mwenge gwamu.”
14
Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi, ddala lusembedde, era lwanguwa mangu. Olunaku luliba lwa kubonaabona! n'omulwanyi omuzira alikaaba olw'obuyinike obungi.
15
Olunaku olwo luliba lunaku lwa busungu, lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuzikirira na kuggwaawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n'ekizikiza ekikutte!
16
Lunaku lwa kufuuwa kkondeere n'okulangirira olutalo ku bibuga ebiriko enkomera n'eri eminaala emigulumivu.
17
Ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'emirambo gyabwe girisuulibwa ng'obusa.
18
Ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama, effeeza ne zaabu waabwe tebiriyinza kubawonya. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro ogw'obusungu bwe, kubanga alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3