bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zephaniah 2
Zephaniah 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Mukuŋŋaane, mukuŋŋaane, ayi eggwanga eritalina nsonyi,
2
nga temunnasaasaanyizibwa ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga, era n'ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, ku lunaku olw'obusungu bwe.
3
Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab'omu nsi, abakola by'ayagala. munoonye obutuukirivu, era mwetoowaze, mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama.
4
Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kirisigala matongo. Abantu b'omu Asudodi baligobwamu mu ttuntu, ne Ekuloni kirisaanyizibwawo.
5
Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Mukama akusalidde omusango ggwe Kanani, ensi ey'Abafirisuuti: alikuzikiriza n'otosigalamu muntu!
6
N'olubalama lw'ennyanja luliba malundiro, nga mulimu ensiisira ez'abasumba n'ebisibo eby'embuzi.
7
Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda abaliwonawo, banaalundiranga eyo era balisula mu mayumba ag'omu Asukulooni kubanga Mukama Katonda waabwe alibeera wamu nabo, era alibaddizaawo obugagga bwabwe.
8
“Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange, era nga beewaana nga bwe bajja okutwala ensi yaabwe.
9
Kale, nga bwe ndi omulamu,” bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, “ Mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'ab'Amoni nga Ggomola: ebifo omufungamye omwennyango, n'ebinnya omusimwa omunnyo, era amatongo agatalivaawo. Mulinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekirisigalawo kirisikira ensi yammwe.”
10
Eyo y'eriba empeera yaabwe olw'amalala gaabwe, kubanga bavumye era ne beekulumbaliza ku abantu ba Mukama w'eggye.
11
Mukama aliba wa ntiisa gyebali, bwalitoowaza bakatonda bonna ab'ensi zonna. Kale abantu bonna balimusinza, buli muntu asinziira mu nsi ye ye.
12
Nammwe Abaesiyopya, mulittibwa n'ekitala kyange.
13
Mukama alikozesa obuyinza bwe n'azikiriza Obwasuli. Alifuula Nineeve amatongo era okuba ekikalu ng'eddungu.
14
Kirifuuka ekifo omunaagalamiranga amagana, n'ebisolo byonna ebya buli ngeri. Ebiwuugulu binaasulanga mu bifulukwa byakyo, biwuugulirenga mu madirisa. Emiryango girimenyebwamenyebwa, n'enjola ez'emivule ziryerulwa.
15
Ebyo bye birituuka ku kibuga ekyenyumirizanga olw'obuyinza bwakyo, ne kirowooza nti tekirituukibwako kabi. Kyewaananga nti, “Nze tewali annenkana!” Naye kilifuuka matongo, ekifo ensolo we ziwummulira! buli muntu anaakiyitangako anaasoozanga n'afunya ebikonde, n'anyeenya emikono gye.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3