bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zephaniah 3
Zephaniah 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Zikisanze ekibuga Yerusaalemi, ekijeemu era ekyonoonefu, ekibonyaabonya abantu baakyo.
2
Tekigondera ddoboozi, wadde okukkiriza okubuulirirwa; tekyesiga Mukama wadde okusemberera Katonda waakyo.
3
Abakungu baamu bali ng'empologoma eziwuluguma; abalamuzi baamu balinga emisege egy'ekiro, bakirimululu abatafissaawo kantu.
4
Bannabbi baamu baggwaamu ensa, era ba nkwe. Bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, era bafuulafuula amateeka ga Katonda okufuna bye baagala.
5
Naye Mukama akyali mu kibuga ekyo, akola ebituufu, so takola bitali bya butuukirivu. Buli nkya, awatali kwosa, alaga nga bw'ali omwenkanya. Naye abantu ababi tebakwatibwa nsonyi, bongera kukola bibi!
6
Mukama agamba nti, “Nsaanyizzaawo amawanga, ebigo byago ebigumu bisuuliddwa ku ttaka. Nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba aziyitamu. Ebibuga byabwe bifuuse matongo, tewakyali babibeeramu.
7
N'ayogera eri ekibuga nti, ‘Mazima onoontya, onookkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo.’ Naye bo beeyongera bweyongezi okukola ebikolwa ebibi.”
8
“Kale munnindirire,” bw'ayogera Mukama, “okutuusa ku lunaku lwe ndiyimirira ng'omujulizi, kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, n'obwakabaka, mbamalireko essungu n'ekiruyi kyange kyonna. Ensi yonna omuliro ogw'obuggya bwange guligisaanyawo.”
9
“Mu biro ebyo ndikyusa emitima gy'abantu ab'omu mawanga, bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, balimuweereza n'omutima gumu.
10
Abalinneegayirira be bantu bange abaasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya.
11
Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya: kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'aba malala, so naawe toliddamu kunjeemera ku lusozi lwange olutukuvu.
12
Naye ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era abanneesiganga erinnya lya Mukama.
13
Ekitundu kya Isiraeri ekirisigalawo tebalikola ebitali bya butuukirivu so tebalyogera by'abulimba, wadde okuba abakuusa. Balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.”
14
Yimba, ayi omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ayi Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ayi omuwala wa Yerusaalemi.
15
Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya kabi konna nate.
16
Ekiseera kijja kutuuka bagambe Yerusaalemi nti, “Totya ggwe Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira.
17
Mukama Katonda wo ali naawe, ow'amaanyi yakuwa okuwangula. Alikusanyukira nnyo, aliddamu okukulaga okwagala kwe, alikwaniriza ng'ayimba nga musanyufu.
18
Ng'abali ku mbaga bwe basanyuka, Mukama agamba nti, Nzigyeewo akabi akandikutuuseko, era nkuggyeeko obuswavu.
19
Ekiseera kijja kutuuka mbonereze bonna abaakubonyaabonyanga. Ndinunula abalema, ne nkuŋŋaanya abo abasaanyizibwa; era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20
Ekiseera kijja kutuuka mbakuŋŋaanye mmwe. mbakomyewo ewammwe. Ndibawa ekitiibwa n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi, bwe ndibaddizaawo ebirungi nga mulaba,” bw'ayogera Mukama.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3