bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Exodus 19
Exodus 19
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 20 →
1
Mu mwezi ogw'okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri, ku lunaku luli ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi.
2
Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi.
3
Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri
4
nti Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n'ebiwaawaatiro by'empungu era bwe nnabaleeta gye ndi.
5
Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna kubanga ensi yonna yange:
6
nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu. Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri.
7
Musa n'ajja n'ayita abakadde ab'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira.
8
Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti Byonna bye yayogera Mukama tulibikola. Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.
9
Mukama n'amugamba Musa nti Laba, njija gy'oli mu kire ekizimbye, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna. Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.
10
Mukama n'agamba Musa nti Genda eri abantu, obatukuze leero ne jjo, era bayoze engoye zaabwe,
11
beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu: kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi.
12
Naawe olibateekera abantu ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo: buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa:
13
omukono gwonna guleme okumukwatako, naye talirema kukubibwa mayinja oba kufumitwa; oba ensolo, oba muntu, taliba mulamu: eŋŋombe bw'erivuga ennyo, balisemberera olusozi.
14
Musa n'akka ng'ava mu lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe.
15
N'agamba abantu nti Mweteekereteekere alunaku olw'okusatu: temusemberera mukazi.
16
Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekizimbye ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.
17
Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi.
18
Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
19
Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi.
20
Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi: Musa n'alinnya.
21
Mukama n'agamba Musa nti Serengeta, olagire abantu, baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okubula mu bo.
22
Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okugwa ku bo.
23
Musa n'agamba Mukama nti Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi: kubanga watulagira, ng'oyogera nti Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.
24
Mukama n'amugamba nti Genda, oserengete; naawe olirinnya, ggwe ne Alooni wamu naawe; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okugwa ku bo.
25
Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40