bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Exodus 33
Exodus 33
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
1
Mukama n'agamba Musa nti Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo:
2
era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi:
3
mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki: kubanga nze siririnnya wakati mu mumwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: nneme okukuzikiriza mu kkubo.
4
Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala: ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo bye.
5
Mukama n'agamba Musa nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza: kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.
6
Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo.
7
Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira.
8
Era Musa bwe yafulumanga n'agendanga mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema.
9
Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema: Mukama n'ayogera ne Musa.
10
Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema: abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye.
11
Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate: naye omuweereza we, Yoswa, omwana wa Nuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.
12
Musa n'agamba Mukama nti Laba, ondagira nti Twala abantu bano: n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.
13
Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.
14
N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.
15
N'amugamba nti Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano.
16
Kubanga kiritegeerebwa kitya nga nze nalaba ekisa mu maaso go, nze n'abantu bo? si kyekiriva kitegeerebwa kubanga ogenda naffe, n'okwawulwa ne twawulibwa, nze n'abantu bo, mu bantu bonna abali ku maaso g'ensi?
17
Mukama n'agamba Musa nti Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola: kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya.
18
N'ayogera nti Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo.
19
N'ayogera nti Naayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go, era naatendera erinnya lya Mukama mu maaso go; era naamukwatirwanga ekisa gwe naakwatirwanga ekisa, era naamusaasiranga gwe naasaasiranga.
20
N'ayogera nti Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu.
21
Mukama n'ayogera nti Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja:
22
awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaaba nga kiyita, naakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo:
23
ne nziyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange: naye amaaso gange tegaalabike.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40