bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Exodus 36
Exodus 36
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 37 →
1
Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina omutima ogw'amagezi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.
2
Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina, omutima ogw'amagezi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe, buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza okujja ku mulimu okugukola:
3
Musa n'abawa ekiweebwayo kyonna abaana ba Isiraeri kye baaleeta olw'emirimu egy'okuweereza okw'omu watukuvu, okugikola. Era ne bamuleeteranga ebiweebwayo n'emyoyo egy'eddembe buli nkya.
4
N'ab'amagezi bonna, abaakola emirimu gyonna egy'omu watukuvu, ne bava buli muntu ku mulimu gwe, gwe baali bakola;
5
ne bagamba Musa nti Abantu baleeta bingi ebisukkiridde ennyo okumala okukola emirimu, Mukama gye yalagira okukola.
6
Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna, nti Omusaja era n'omukazi alekere awo okukola nate omulimu gwonna ogw'ekiweebwayo eky'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta.
7
Kubanga ebintu bye baali nabyo byamala emirimu gyonna okugikola, era byasukkirirawo.
8
Na buli muntu eyalina omutima ogw'amagezi eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yagukola.
9
Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna gyali gya kigero kimu.
10
N'agatta emitanda etaano gyokka na gyokka: era n'emitanda etaano emirala n'agigatta gyokka na gyokka.
11
N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte: era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
12
Yakola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri: eŋŋango zaalabagana zokka na zokka.
13
Era n'akola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, n'agatta emitanda gyokka m gyokka n'ebikwaso: eweema n'ebeera emu.
14
Era n'akola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: yakola emitanda kkumi na gumu.
15
Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu gyali gya kigero kimu.
16
N'agatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka.
17
N'akola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano n'azikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
18
Era n'akola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo okugatta eweema, ebeere emu.
19
Era n'agikolera eweema eky'okugibikkako eky'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.
20
Era n'akola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, okuyimirira.
21
Emikono kkumi bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo.
22
Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka: bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema.
23
N'akola embaawo ez'eweema; embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo:
24
era n'akola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri.
25
Era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'akola embaawo amakumi abiri,
26
n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
27
Era ez'oluuyi olw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba n'akola embaawomukaaga.
28
Era n'akola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega.
29
Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu: bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi.
30
Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo.
31
Era n'akola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi lumu olw'eweema,
32
n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olulala olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'eweema ez'oluuyi olw'emabega olw'ebugwanjuba.
33
N'omuti ogwa wakati n'aguyisa wakati mu mbaawo eruuyi n'eruuyi.
34
N'embaawo n'azibikkako zaabu, n'akola empeta zaazo eza zaabu omw'okuteekera emiti, n'emiti n'agibikkako zaabu.
35
N'akola eggigi erya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yalikola.
36
N'alikolera empagi nnya ez'omuti gwa sita, n'azibikkako zaabu: n'ebikwaso byazo byali bya zaabu; n'azifumbira ebinnya bina ebya ffeeza.
37
N'alukolera akatimba oluggi olw'eweema, aka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza;
38
n'empagi zaako ttaano n'ebikwaso byazo: n'emitwe gyazo n'emiziziko gyazo n'abibikkako zaabu: n'ebinnya byazo bitaano byali bya bikomo.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40