bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Ezekiel 14
Ezekiel 14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 15 →
1
Awo abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja gye ndi ne batuula mu maaso gange.
2
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
3
Omwana w'omuntu, abasajja bano batutte ebifaananyi byabwe mu mutima gwabwe, era batadde enkonge ey'obutali butuukirivu mu maaso gaabwe: nnyinza ntya abo okumbuuza n'akamu kokka?
4
Kale yogera nabo obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe, n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli;
5
ndyoke nkwase ennyumba ya Isiraeri omutima gwabwe bo, kubanga bonna banneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe.
6
Kale bagambe ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mudde mukyuke okuleka ebifaananyi byammwe; era mukyuse amaaso gammwe okuleka emizizo gyammwe gyonna.
7
Kubanga buli muntu ow'omu nayumba ya Isiraeri oba ow'okubannaggwanga ababeera mu Isiraeri eyeeyawula nange n'atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama ndimuddamu nze mwene:
8
era ndikakasa amaaso gange okwolekera omuntu oyo, era ndimufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama.
9
Era oba nga nnabbi alirimbibwa n'ayogera ekigambo, nze Mukama nga nnimbye nnabbi oyo, era ndimugololerako omukono gwange, ne mmuzikiriza wakati mu bantu bange Isiraeri.
10
Era balyetikka obutali butuukirivu bwabwe: obutali butuukirivu bwa nnabbi bulyenkanira ddala obutali butuukirivu bw'oyo amwebuuzaako;
11
ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
12
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
13
Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ng'esobezza, nange ne ngigololerako omukono gwange ne mmenya omuggo ogw'emigaati gyamu, ne ngiweerezaako enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo;
14
abo bonsatule, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu, newakubadde nga baali omwo, bandiwonyezza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
15
Bwe ndiyisa ensolo embi mu nsi n'okugyonoona ne zigyonoona n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo;
16
abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika.
17
Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ne njogera nti Ekitala, yita mu nsi; n'okumalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo;
18
abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini baliwonyezebwa bokka.
19
Oba bwe ndiweereza kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukako ekiruyi kyange mu musaayi, okugimalamu abantu n'ensolo:
20
Nuuwa ne Danyeri ne Yobu newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya mutabani waabwe newakubadde muwala waabwe; baliwonya emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe.
21
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kale tebirisinga nnyo okuba bwe bityo, bwe ndiweereza emisango gyange ena emizibu ku Yerusaalemi, ekitala n'enjala n'ensolo embi ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?
22
Era naye mulisigalamu ekitundu ekifisseewo ekiriggibwamu ne kitwalibwa, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: laba, balifuluma balijja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulisanyusibwa mu bubi bwe ndeese ku Yerusaalemi, olwa byonna bye nkireseeeko.
23
Era balibasanyusa bwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulimanya nga saabalanga bwereere okukola byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48