bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Ezekiel 22
Ezekiel 22
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
1
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2
Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosala omusango ogw'ekibuga eky'omusaayi? kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna.
3
Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo so, ekiseera kyakyo kituuke, ekikola ebifaananyi okweyonoona okwegwagwawaza!
4
Ozzizza omusango ogw'omusaayi gwo gw'oyiye, era ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okukudaalira eri ensi zonna.
5
Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, ggwe alina erinnya ery'obugwagwa era ajjudde okusasamala.
6
Laba, abakungu ba Isiraeri, buli muntu ng'obuyinza bwe bwe buli, baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi.
7
Mu ggwe mwe baanyoomeranga kitaabwe ne nnyaabwe; wakati mu ggwe mwe baakoleranga omugenyi eby'okujooga: mu ggwe mwe baalyazaamaanyanga atalina kitaawe ne nnamwandu.
8
Wanyoomanga ebintu byange ebitukuvu, n'oyonoonanga ssabbiiti zange.
9
Abasajja abawaayiriza baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi: ne mu ggwe mwe baaliiranga ku nsozi: wakati mu ggwe mwe baakoleranga eby'obukaba.
10
Mu ggwe mwe babikkulidde ku bwereere bwa kitaabwe: mu ggwe mwe bakwatira n'amaanyi omukazi eyali nga si mulongoofu olw'okweyawula kwe.
11
Era waliwo akoze eky'omuzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obukaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwannyina muwala wa kitaawe.
12
Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba ne bisukkirira, era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba ng'okwatiddwa omululu ng'ojooga, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda.
13
Laba nno, amagoba go agatali ga mazima ge wagoba kyennava ngakubira mu ngalo n'omusaayi gwo ogwabanga wakati mu ggwe.
14
Omutima gwo guliyinza okugumiikiriza, oba emikono gyo giriyinza okuba n'amaanyi, mu nnaku mwe nditeeseza ebibyo? nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola.
15
Era ndikusaasaanyiza mu mawanga, ne nkutaataaganyiza mu nsi nnyingi; era ndikumalamu empitambi yo.
16
Awo oligwagwawazibwa ku bubwo wekka mu maaso g'amawanga; kale olimanya nga nze Mukama.
17
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
18
Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri efuuse amasengere gye ndi: ne bonna bikomo na masasi na byuma na bbaati wakati mu kikoomi; masengere ga ffeeza.
19
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse masengere, laba, kyendiva mbakuŋŋnaanya mu Yerusaalemi wakati.
20
Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omuliro okubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa.
21
Weewaawo, ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro ogw'obusungu bwange, nammwe mulisaanuuka wakati mu kyo.
22
Ng'effeeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, nammwe bwe mulisaanuukira bwe mutyo wakati nu kyo; kale mulimanya nga nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.
23
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
24
omwana w'omuntu, kigambe nti ggwe oli nsi eterongoosebwa, so tetonnyebwako nkuba ku lunaku olw'okunyiigirako.
25
Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo: alidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde bannamwandu baakyo okuba abangi wakati mu kyo.
26
Bakabona baakyo bagiridde ekyejo amateeka gange, era bagwagwawazizza ebintu byange ebitukuvu: tebaawuddeemu bitukuvu n’ebitali bitukuvu, so tebayigiriza bantu okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, era bakwese amaaso gaabwe essabbiiti zange, nange nvumisibwa mu bo.
27
Abakungu baakyo wakati mu kyo bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiggo; okuyiwa omusaayi n'okuzikiriza emmeeme balyoke bafune amagoba agatali ga mazima.
28
Era bannabbi baakyo babasiigiddeko ebbumba eritasekuddwa bulungi, nga balaba ebyayanga era nga babalagula eby'obulimba, nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Mukama nga so tayogedde.
29
Abantu ab'omu nsi bajooze, ne bagoberera okunyaga; weewaawo, beeraliikirizza omwavu n'eyeetaaga, era bajooze nunnaggwanga nga bamulanga bwereere.
30
Ne nnoonya omusajja mu bo eyandiddaabirizza olukomera n'ayimirira mu kituli ekiwaguddwa mu maaso gange ku lw'ensi, nneme okugizikiriza: naye ne ssiraba n'omu.
31
Kyenvudde mbafukako okunyiiga kwange; mbamazeewo n'omuliro ogw'obusungu bwange: ndese ku mutwe gwabwe ekkubo lyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48