bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Ezekiel 37
Ezekiel 37
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 38 →
1
Omukono gwa Mukama gwali ku nze, n'antwala n'anfulumiza mu mwoyo gwa Mukama, n'anzisa wakati mu kiwonvu; kale nga kijjudde amagumba;
2
n'agampisaako okugeetooloola: kale, laba, nga mangi nnyo mu kiwonvu mu bbanga; era, laba, makalu nnyo.
3
N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu? Ne nziramu nti Ai Mukama Katonda, ggwe omanyi.
4
N'aŋŋamba nate nti Lagulira ku magumba gano ogagambe nti Ai mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama.
5
Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba amagumba gano nti Laba, ndiyingiza omukka mu mmwe; kale muliba balamu:
6
Era ndibateekako ebinywa, era ndireeta ennyama ku mmwe, ne mbabikkako eddiba, ne mbateekamu omukka, kale mulimanya nga nze Mukama.
7
Awo ne ndagula nga bwe nnalagirwa: awo bwe nnali nga ndagula, ne wabaawo eddoboozi, era, laba, ekikankano ky'ensi, amagumba ne geegatta buli ggumba n'eggumba linnaalyo.
8
Awo ne ntunula, era, laba, nga kuliko ebinywa, omubiri ne gujja, eddiba ne ligabikkako waggulu: naye nga temuli mukka mu go.
9
Awo n'aŋŋamba nti Lagula empewo, lagula, omwana w'omuntu, ogambe empewo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti jjangu okuva eri empewo ennya, ai omukka, ofuuwe ku bano abattibwa, babeere abalamu.
10
Awo ne ndagula nga bwe yandagira, omukka ne gubayingira, ne babeera balamu, ne bayimirira ku bigere byabwe, eggye lingi nnyo.
11
Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isiraeri: laba, boogera nti Amagumba gaffe gakaze, n'essuubi lyafe libuze; tumaliddwawo ddala.
12
Kale lagula obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ai abantu bange: era ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri.
13
Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga njasamizza amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ai abantu bange.
14
Era nditeeka omwoyo gwange mu mmwe, era muliba balamu, era ndibateeka mu nsi yammwe mmwe: kale mulimanya nga aze Mukama nkyogedde, era n'okutuukiriza ne nkituukiriza, bw'ayogera Mukama.
15
Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera
16
Naawe, omwana w'omuntu, ddira omuggo gumu, oguwandiikeko nti Gwa Yuda, era gwa baana ba Isiraeri banne: olyokke oddire omuggo omulala oguwandiikeko nti Gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu, era gwa nnyumba yonna eya Isiraeri banne:
17
kale ogyegattire gyombi okuba omuggo ogumu, gibeere ogumu mu mukono gwo.
18
Awo abaana b'abantu bo bwe balyogera naawe nga bagamba nti Tootunnyonnyole makulu bwe gali g'oleeta na gino?
19
n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n'ebika bya Isiraeri banne; era ndibateeka wamu nagwo, wamu n'omuggo gwa Yuda, ne mbafuula omuggo gumu, kale ne baba gumu mu mukono gwange.
20
N'emiggo gy'owandiikako giriba mu mukono gwo mu maaso gaabwe.
21
N'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiggya abaana ba Isiraeri wakati mu mawanga, gye baagenda, ne mbakuŋŋaanyiza enjuyi zonna, ne mbaleeta mu nsi yaabwe bo:
22
kale ndibafuula eggwanga erimu mu nsi ku nsozi za Isiraeri; era kabaka omu ye aliba kabaka waabwe bonna: so tebalyawulibwa nate okuba obwakabaka bubiri n'akatono:
23
so tebalyeyonoona nate n'ebifaananyi byabwe newakubadde n'ebintu byabwe eby'emizizo newakubadde n'okusobya kwabwe kwonna: naye ndibalokola okuva mu nnyumba zaabwe zonna, mwe baakoleranga ebibi, ne mbalongoosa: kale bwe batyo banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe.
24
N'omuddu wange Dawudi ye aliba kabaka waabwe; era bonna baliba n'omusumba omu: era n'okutambuba balitambulira mu misango gyange ne bakwata amateeka gange ne bagakola.
25
Era balibeera mu nsi gye nnawa Yakobo omuddu wange bajjajjammwe mwe baabeera kale balibeera omwo, bo n'abaana baabwe n'abaana b'abaana baabwe emirembe gyonna: era Dawudi omuddu wange ye anaabanga omulangira waabwe emirembe gyonna.
26
Era nate ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, eneebanga ndagaano eteriggwaawo gye bali: era ndibateekawo ne mbaaza, era nditeeka awatukuvu wange wakati mu bo emirembe gyonna.
27
Era n'eweema yange eneebanga nabo: nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.
28
Kale amawanga galimanya nga nze Mukama atukuza Isiraeri, awatukuvu wange bwe wanaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48