bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Jeremiah 18
Jeremiah 18
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 19 →
1
Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nti
2
Golokoka oserengete eri ennyumba ey'omubumbi, era eyo gye nnaakuwuliriza ebigambo byange.
3
Awo ne nserengeta eri ennyumba ey'omubumbi, kale, laba, ng'akolera omulimu gwe ku bannamuziga.
4
Awo ekintu kye yali akola n'ebbumba bwe kyayonoonekera mu mukono gw'omubumbi, n'akibumba nate okuba ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiima okukibumba.
5
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
6
Ai ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? bw'ayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ai ennyumba ya Isiraeri.
7
Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza;
8
eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.
9
Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okulizimba n'okulisimba;
10
bwe lirikola obubi mu maaso gange, obutawulira ddoboozi lyange, kale ndyejjusa obulungi bwe nnayogera okukola okubagasa.
11
Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, mbateesezzaako obubi era mbasalira amagezi: mukomeewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.
12
Naye ne boogera nti Tewali ssuubi: kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.
13
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mubuuze nno mu mawanga eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo; omuwala wa Isiraeri akoze ekigambo eky'ekivve ennyo.
14
Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira?
15
Kubanga abantu bange banneerabidde, bookerezza obubaane ebitaliimu; era babeesittazizza mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, okutambulira mu mpenda, mu kkubo eritali ssende;
16
okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe.
17
Ndibasaasaanya nga n'embuyaga eziva ebuvanjuba mu maaso g'omulabe; nditunuulira amabega gaabwe so si maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.
18
Awo ne balyoka boogera nti Mujje tumusalire Yeremiya amagezi; kubanga amateeka tegalibula awali kabona, newakubadde okuteesa awali ow'amagezi, newakubadde ekigambo awali nnabbi: Mujje tumukube n'olulimi, tuleme okussaayo omwoyo eri ebigambo bye n'ekimu.
19
Ssaayo omwoyo eri nze, ai Mukama, owulire eddoboozi ly'abo abampakanya.
20
Obubi bulisasulwa olw'obulungi? kubanga basimidde emmeeme yange obunnya. Jjukira bwe nnayimirira mu maaso go okuboogerera bo ebirungi okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko.
21
Kale waayo abaana baabwe eri enjala, obagabule eri obuyinza obw'ekitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo.
22
Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina nga tebamanyiridde: kubanga basimye obunnya okunkwata, era bakwekedde ebigere byange ebyambika.
23
Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go: naye basuulibwe mi maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
Recommended Reading
Commentary
Jeremiah Commentaries
→
Devotional
Jeremiah Devotional Guide
→
Get This Bible
Luganda (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya) Study Bible
→