bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Jeremiah 5
Jeremiah 5
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 6 →
1
Muddukane eruuyi n'eruuyi mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale naakisonyiwa.
2
Era ne bwe boogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, mazima balayira bya bulimba.
3
Ai Mukama, amaaso go tegatunuulira mazima? obakubye, naye ne batanakuwala; obamazeewo, naye bagaanyi okubuulirirwa: bakakanyazizza amaaso gaabwe okukira olwazi; bagaanyi okudda.
4
Awo ne njogera nti Mazima bano baavu: basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde omusango gwa Katonda waabwe:
5
neegendera eri abakulu ne njogera nabo; kubanga bo bamanyi ekkubo lya Mukama, n'omusango gwa Katonda waabwe. Naye abo bamenye ekikoligo n'omwoyo gumu ne bakutula ebisiba.
6
Empologoma eva mu kibira kyeriva ebatta,omusege ogw'ekiro gulibanyaga, engo eriteegera mu bibuga byabwe, buli muntu ava omwo anaataagulwataagulwanga: kubanga okusobya kwabwe kungi n'okuseeseetuka kwabwe kweyongedde.
7
Nnyinza ntya okukusonyiwa? abaana bo banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda: bwe nabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi ebibiina.
8
Baali ng'embalaasi ezaaliisibwa enkya: buli muntu ng'abebera mukazi wa munne.
9
Siribonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: era emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?
10
Mulinnye ku bbugwe waakyo, muzikirize; naye temukomekkerereza ddala: muggyeewo amatabi gaakyo: kubanga si ga Mukama.
11
Kubanga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bankuusizzakuusizza nnyo nnyini, bw'ayogera Mukama.
12
Beegaanyi Mukama ne boogera nti Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala ewakubadde enjala:
13
ne bannabi balifuuka mpewo, so n'ekigambo tekiri mu bo: bwe balikolebwa bwe batyo.
14
Mukama Katonda ow'egye kyava ayogera nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano kuba enku, era gulibookya.
15
Laba, ndireeta ku mmwe eggwaga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama: ggwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko olulimi lwalyo so totegeera bye boogera.
16
Omufuko gwabwe ntaana eyasaamiridde, bonna basajja ba maanyi.
17
Era balirya ebikungulwa byo n'emmere yo, batabani bo ne bawala bo bye bandiridde: balirya embuzi zo n'ente zo: balrya emizabbibu gyo n'emitiini gyo: balimenyaamenya n'ekitala ebibuga byo ebiriko enkomera bye weesiga.
18
Era naye ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, sirikomekkerereza dala gye muli.
19
Awo olulituuka bwe mulyogera nti Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe ebyo byonna? kale n'olyoka obagamba nti Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda bannaggwanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannaggwanga mu nsi eteri yammwe.
20
Mubuulirire kino mu nnyumba ya Yakobo, mukirangirire mu Yuda, nti
21
Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso ne mutalaba; abalina amatu ne mutawulira:
22
temuntya? bw'ayogera Mukama: temuukankanire kujja kwange, eyateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako? era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwangula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako.
23
Naye abantu bano balina omutima omuwaganyavu era omujeemu; bajeemye bagenze.
24
So teboogera mu mutima gwabwe nti Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera sabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo.
25
Obutali butuukirivu bwammwe bwe busindise ebyo, n'ebibi byammwe bye bibaziyiriza ebirungi.
26
Kubanga mu bantu bange mulabika abasajja ababi: balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, bakwasa bantu.
27
Ng'ekiguli bwe kijjula ennyonyi, ennyumba zaabwe bwe zijjula bwe zityo obulimba: kyebavudde bafuuka abakulu ne bagaggawala.
28
Bagezze, banyiridde: weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi: tebalowooza nsonga, ensonga y'atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe.
29
Siribonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?
30
Ekigambo eky'ekitalo era eky'ekivve kituukiridde mu nsi;
31
bannabbi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ku lw'abo; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo: era mulikola ki ku nkomerero y'ebyo?
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52