bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Jeremiah 30
Jeremiah 30
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 31 →
1
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti
2
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Weewandiikire mu kitabo ebigambo byonna bye nnaakakubuulira.
3
Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndikyusa nate obusibe bw'abantu bange Isiraeri ne Yuda, bw'ayogera Mukama: era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era baligirya.
4
Era bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebya Isiraeri n'ebya Yuda.
5
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Tuwulidde eddoboozi ery'okukankana, ery'okutya so si lya mirembe.
6
Mubuuze nno mulabe oba ng'omusajja alumwa okuzaala: kiki ekindabya buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina ng'omukazi alumwa okuzaala, n'amaaso gonna gafuuse ebbala lyago?
7
Woowe kubanga olunaku olwo lukulu so tewali lulwenkana: kye kiseera Yakobo mw'alabira ennaku; naye alirokoka mu zo.
8
Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo kye ku nsingo yo, era ndikutula ebisiba byo; so bannaggwanga nga tebakyamufuula muddu nate:
9
naye baliba baddu ba Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibayimusiza.
10
Kale totya, ai Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ai Isiraeri: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n'ezzadde lyo nga nnyima mu nsi ey'obusibe bwabwe; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alyessa, so tewaliba alimutiisa.
11
Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalira ddala: naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.
12
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ebbwa lyo teriwonyezeka, n'ekiwundu kyo kya kitalo.
13
Tewali wa kukuwolereza, onyigibwe: tolina ddagala eriwonya.
14
Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakunoonya: kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, okukangavvula okw'omukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde.
15
Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? obulumi bwo tebuwonyezeka: kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo.
16
Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu kusibibwa; n'abo abakunyaga baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga ndibagabula okuba omuyiggo.
17
Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atanoonya.
18
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikyusa nate obusibe bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze; n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, n'olubiri lulisigalawo ng'engeri yaalwo bw'eri.
19
Awo mu byo muliva okwebaza n'eddoboozi ly'abo abasanyuka: era ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebaliba bato.
20
Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga.
21
N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi kubanga ani eyali ayaŋŋanze okujja we ndi? bw'ayogera Mukama.
22
Nammwe munaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda wammwe.
23
Laba, kibuyaga wa Mukama kye kiruyi kye, afulumye, kibuyaga ayera: aligwa ku mutwe gw'ababi.
24
Obusungu bwa Mukama omukambwe tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza, okutuusa lw'alikomekkereza omutima gwe gye gumaliridde: mu nnaku ez'oluvannyuma mwe mulikitegeerera.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52