bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Matthew 2
Matthew 2
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
1
Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi,
2
nga bagamba nti Ali ludda wa oyo eyazaalibwa Kabaka w'Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ebuvanjuba, ne tujja okumusinza.
3
Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna.
4
N'akuŋŋanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza nti Kristo alizaalibwa wa?
5
Nabo ne bamugamba nti Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya: kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti
6
Naawe Besirekemu, ensi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda: Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri.
7
Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okulabika.
8
N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti Mugende munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke njije mmusinze.
9
Bwe baawulira kabaka, ne bagenda; laba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, n'ejja n'eyimirira waggulu omwana w'ali.
10
Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essaayu lingi nnyo.
11
Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.
12
Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode ne baddayo ewaabwe mu kkubo eddala.
13
Laba, bwe baamala okugenda malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, ng'amugamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba; kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.
14
Naye n'azuukuka n'atwala omwana ne nnyina ekiro n'agenda e Misiri;
15
n'abeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti Nnayita omwana wange okuva mu Misiri.
16
Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali.
17
Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti
18
Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So teyayagala kukubagizibwa, kubanga tewakyali.
19
Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri,
20
ng'agamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri: kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.
21
N'agolokoka, n'atwala omwana ne nayina, n'ajja mu nsi ya Isiraeri.
22
Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Naye Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'ayita ku luuyi lwe Ggaliraaya,
23
n'ajja n'abeera mu kyalo, erinnya lyakyo Nazaaleesi: ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire, nti Aliyitibwa Munazaalaayo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28