bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Matthew 3
Matthew 3
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
1
Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja ng'abuulirira mu ddungu ery'e Buyudaaya,
2
ng'agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
3
Kubanga oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
4
Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yali nzige na mubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
5
Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali;
6
n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7
Naye Lwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajjirira okubatiza kwe n'abagamba nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8
Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya;
9
temulowooza kwogera mu mitima nti Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.
10
Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti: buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.
11
Nze mbabatiza na mazzi olw'okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
12
Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.
13
Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize.
14
Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gye ndi?
15
Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okntuukiriza obutuukirivu bwonna. N'alyoka amukkiriza.
16
Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye;
17
laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28