bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Matthew 4
Matthew 4
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
1
Awo Yesu n'atwalibwa Omwoyo mu ddungu okukemebwa Setaani.
2
Bwe yamala okusiiba ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro, enjala n'eryoka emuluma.
3
Omukemi n'ajja n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.
4
Naye n'addamu n'agamba nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.
5
Awo Setaani n'amutwala ku kibuga ekitukuvu n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu,
6
n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi: kubanga kyawandiikibwa nti Alikulagiririza bamalayika be: Mu mikono gyabwe balikuwanirira, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
7
Yesu n'amugamba nti Kyawandiikibwa nate nti Tokemanga Mukama Katonda wo.
8
Ate Setaani n'amutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n'ekitiibwa kyazo;
9
n'amugamba nti Ebyo byonna naabikuwa bw'onoovuunama okunsinza.
10
Awo Yesu n'amugamba nti Vaawo genda, Setaani: kubanga kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo; era omuweerezanga yekka.
11
Awo Setaani n'amuleka; laba, bamalayika ne bajja, ne bamuweereza.
12
Awo bwe yawulira nga Yokaana bamuwaddeyo, n'addayo e Ggaliraaya;
13
ng'avudde e Nazaaleesi, n'ajja, n'abeera e Kaperunawumu, ekiri ku nnyanja, mu nsi ya Zebbulooni ne Nafutaali:
14
ekigambo kituukirire nnabbi Isaaya kye yayogera, ng'agamba nti
15
Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, Ekkubo ly'ennyanja, emitala wa Yoludaani, e Ggaliraaya ey'amawanga.
16
Abantu abaali batuula mu kizikiza, Baalaba omusana mungi, N'abo abaali batuula mu nsi y'okufa ne mu kisiikirize kyakwo, Omusana gwabaakira.
17
Yesu n'asookera awo okubuulira n'okugamba nti Mwenenye; kubanga okwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
18
Bwe yali ng'atambula ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya, n'alaba ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayita Peetero, ne Andereya muganda we, nga basuula omugonjo mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
19
N'abagamba nti Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b'abantu.
20
Amangu ago ne baleka emigonjo, ne bayita naye:
21
N'atambulako mu maaso n'alaba ab'oluganda babiri abalala, Yakobo omwana wa Zebedaayo, ne Yokaana muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebeedaayo, nga bayunga emigonjo gyabwe; n'abayita.
22
Amangu ago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bagenda naye.
23
Yesu n'abuna Ggaliraaya yonna, ng'abayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna mu bantu.
24
Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonna: ne bamuleetera bonna abaali balwadde, abaali bakwatiddwa endwadde ezitali zimu, n’ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu; n'ab'ensimbu, n'abaali bakoozimbye; n'abawonya.
25
Ebibiina bingi, nga bava e Ggaliraaya n’e Dekapoli n'e Yerusaalemi n’e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani ne bayita naye.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28