bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Numbers 24
Numbers 24
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
1
Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, ng'olulala, okunoonya eddogo, naye n'ayolekeza amaaso ge olukoola.
2
Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe byali; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.
3
N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
4
Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5
Nti Eweema zo nga nnungi, ggwe Yakobo, Ennyumba zo, ggwe Isiraeri!
6
Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu, Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga, Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba, Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi.
7
Amazzi ganaakulukutanga okuva mu nsuwa ze. N'ensigo ze zinaabanga awali amazzi amangi, Ne kabaka we anaasinganga Agagi obugulumivu, N'obwakabaka bwe bunaagulumizibwanga.
8
Katonda amuggya mu Misiri; Alina amaanyi ng'ag'embogo. Aliriira ddala amawanga abalabe be, Era alimenyamenya amagumba gaabwe, N'abakuba okubafumita n'obusaale bwe.
9
Yabwama, yagalamira ng'empologoma ennume, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamusaggula? Aweebwenga omukisa buli anaakusabiranga omukisa, Era akolimirwenga buli anaakukolimiranga.
10
Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo: Balaki n'agamba Balamu nti Nakuyita okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule.
11
Kale nno dduka oddeyo ewuwo: mbadde njagala okukukuza obeere n'ekitiibwa kingi nnyo; naye, laba, Mukama akuziyizizza okuba n'ekitiibwa.
12
Balamu n'agamba Balaki nti Era saagamba n'ababaka bo be wantumira
13
nti Balaki bw'alyagala okumpa ennyumba ye ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nnyima mu magezi gange nze; Mukama ky'anaayogera nange kye nnaayogera?
14
Era kaakano, laba, ŋŋenda eri abantu bange: jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola abantu bo mu nnaku ez'oluvannyuma.
15
N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu mutabani wa Byoli ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
16
Oyo ayogera awulira ebigambo bya Katonda. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula:
17
Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Muliva emmunyeenye mu Yakobo, N'omuggo ogw'obwakabaka guliyimuka mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulimenyera ddala abaana bonna ab'oluyoogaano.
18
Kale Edomu aliba butaka, Era ne Seyiri aliba butaka, abaali abalabe be; Isiraeri ng'akola eby'obuzira.
19
Era muliva mu Yakobo omu aliba n'okufuga, Alizikiriza abalifikkawo mu kibuga.
20
N'atunuulira Amaleki, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Amaleki yali wa lubereberye mu mawanga; Naye enkomerero ye ey'oluvannyuma erituuka mu kuzikirira.
21
N'atunuulira Omukeeni, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Ekifo kyo eky'okutuulamu kya maanyi, N'ekisu kyo kyateekebwa ku lwazi.
22
Naye Kayini alinyagibwa, Okutuusa Asuli lw'alikutwala mu busibe.
23
N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Zitusanze, ani aliba omulamu Katonda bw'alikola kino?
24
Naye ebyombo biriva ku ttale ly'e Kittimu, Biribonereza Asuli, biribonereza ne Eberi, Era naye alituuka mu kuzikirira.
25
Balamu n'agolokoka, n'agenda n'addayo mu kifo kye: ne Balaki n'addayo.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36