bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Numbers 27
Numbers 27
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
1
Awo ne wasembera bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ab'oku nda za Manase mutabani wa Yusufu: ne gano ge mannya ga bawala be; Maala, Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
2
Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'abakulu nekibiina kyonna, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, nga boogera nti
3
Kitaffe yafiira mu ddungu, so teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanyiza ku Mukama mu kibiina kya Koola: naye yafiira mu kibi kye ye; so teyazaala baana ba bulenzi.
4
Ekinaaba kiggisaawo ki erinnya lya kitaffe ku nda ye, kubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.
5
Musa n'atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama.
6
Mukama n'agamba Musa nti
7
Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga: tolirema kubawa butaka bwa busika mu baganda ba kitaabwe; era olibasisa obusika bwa kitaabwe.
8
Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe.
9
Era bw'anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe.
10
Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga baganda ba kitaawe obusika.
11
Era kitaawe bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda ku nda ye, naye anaabulyanga: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri tteeka lya musango, nga Mukama bwe yalagira Musa.
12
Awo Mukama n'agamba Musa nti Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri.
13
Kale bw'onoomala okugirengera, naawe olikuŋŋaanyizibwa eri abantu bo, nga Alooni muganda wo bwe yakuŋŋaanyizibwa:
14
kubanga mwajeemera ekigambo kyange mu ddungu Zini, mu kuwakana kw'ekibiina, okuntukuliza ku mazzi mu maaso gaabwe. (Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.)
15
Musa n'agamba Mukama nti
16
Mukama, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, alonde omusajja okufuga ekibiina,
17
anaafulumanga mu maaso gaabwe, era anaayingiranga mu maaso gaabwe, era anaabafulumyanga, era anaabayingizanga; ekibiina kya Mukama kireme okuba ng'endiga ezitalina musumba.
18
Mukama n'agamba Musa nti Twala Yoswa mutabani wa Nuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo;
19
omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'ekibiina kyonna; omukuutirire mu maaso gaabwe.
20
Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bawulirenga.
21
Era anaayimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, anaamubuulizanga olw'omusango gwa Ulimu mu maaso ga Mukama: banaafulumanga lwa kigambo kye, era banaayingiranga lwa kigambo kye, ye n'abaana ba Isiraeri bonna wamu naye, ekibiina kyonna.
22
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'atwala Yoswa, n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna:
23
n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yayogera n'omukono gwa Musa.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36