bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Numbers 25
Numbers 25
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
1
Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu:
2
kubanga baayitanga abantu okujja ku ssaddaaka za bakatonda baabwe; abantu ne balya ne bavuunamira bakatonda baabwe.
3
Isiiaeri ne yeegatta ne Baalipyoli: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri.
4
Mukama n'agamba Musa nti Twala abakulu b'abantu bonna, obawanikire Mukama mu maaso g'enjuba ekiruyi kya Mukama kikyuke kive ku Isiraeri.
5
Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti Mutte buli muntu abasajja be abeegasse ne Baalipyoli.
6
Era, laba, omu ku baana ba Isiraeri n'ajja n’aleetera baganda be omukazi Omumidiyaani mu maaso ga Musa ne mu maaso g'ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri, bwe baali nga bakaabira amaziga ku mulyango gw’eweema ey'okusisinkanirangamu.
7
Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, n'agolokoka wakati mu kibiina, n'addira effumu mu mukono gwe;
8
n'agoberera omusajja Omuisiraeri mu kayumba, n'abafumitira ddala bombi, omusajja Omuisiraeri n'omukazi mu lubuto lwe. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri.
9
N'abo abaafa kawumpuli baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.
10
Mukama n'agamba Musa nti
11
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooai kabona akyusizza obusungu bwange okuva ku baana ba Isiraeri, kubanga akwatiddwa obuggya bwange mu bo, n'okuzikiriza ne sizikiriza baana ba Isiraeri mu buggya bwange.
12
Kyonoova ogamba nti Laba, mmuwa endagaano yange ey'emirembe:
13
era eneebanga gy'ali, n'eri ezzadde lye erinaamuddiriranga, endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo; kubanga yakwatibwa obuggya olwa Katonda we, n'atangirira abaana ba Isiraeri.
14
Era omusajja Omuisiraeri eyattibwa, eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe mu Basimyoni.
15
N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye Kozebi muwala wa Zuuli; oyo yali mutwe gw'abantu ab'omu nnyumba ya bakitaabwe mu Midiyaani.
16
Mukama n'agamba Musa nti
17
Beeraliikirize Abamidiyaani obatte:
18
kubanga babeeraliikiriza n'enkwe zaabwe, ze baasala ne babasendasenda mu bigambo bya Pyoli ne mu bigambo bya Kozebi, muwala w'omukulu wa Midiyaani, mwannyinaabwe, eyattibwa ku lunaku olwa kawumpuli olw'ebigambo bya Pyoli.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36