bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Peter 2
1 Peter 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Kale mulekenga ettima lyonna, n'obulimba bwonna, n'obukuusa, n'obuggya, n'okwogera obubi kwonna.
2
Ng'abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata amalungi agagasa omwoyo, mulyoke muganywe mukule era mulokolebwe.
3
Ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Mwalega ku bulungi bwa Mukama.”
4
Mujje gy'ali. Ye lye jjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery'omugaso ennyo.
5
Mujje gy'ali ng'amayinja amalamu, muzimbe ennyumba ey'omwoyo. Mu yo, mube bakabona abatukuvu, abaweereza ebitambiro eby'omwoyo, ebisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo.
6
Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Nalonda ejjinja ery'omuwendo, kati lye nteeka mu Siyooni, libe ekkulu ery'entabiro. Era amukkiriza taliswazibwa”
7
Ejjinja lino lya muwendo nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abo abatakkiriza: “Lye jjinja abazimbi lye baagaana, eryafuuka ekkulu ery'entabiro.”
8
Era nti: “Lye jjinja abantu kwe beekoona; lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala, kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda. Bwe batyo bwe baateekerwateekerwa.
9
Naye mmwe muli lulyo lulondobe, bakabona ba Kabaka, ggwanga ttukuvu, bantu ba Katonda bennyini, abaalondebwamu mulyoke mulangirire ebirungi bya Katonda eyabayita okuva mu kizikiza, okuyingira mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa. 2:14; Yis 9:2
10
Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda. Edda mwali temusaasirwa Katonda, kyokka kaakano abasaasidde.
11
Abaagalwa, muli bagenyi abayita obuyisi mu nsi muno. Mbeegayirira mwewale ebyo omubiri bye gwegomba, ebirwanyisa omwoyo.
12
Mukuumenga empisa zammwe ennungi, olwo abantu ab'ensi be mulimu, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, bagulumize Katonda ku lunaku lw'alijjirako.
13
Ku bwa Mukama, muwulire buli kiragiro eky'abo abalina obuyinza, oba kabaka alina obuyinza obw'oku ntikko,
14
oba abafuzi abalala b'atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n'okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi.
15
Katonda ayagala mukole ebikolwa ebirungi, musirise abantu abasiru era abatalina kye bamanyi.
16
Mube ba ddembe, naye eddembe eryo muleme kulyesigamako okuyisa obubi, wabula mulikozese ng'abaweereza ba Katonda.
17
Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu abafuzi ekitiibwa.
18
Abakozi muwulirenga bakama bammwe, mubassengamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi era abakwatampola, naye n'abo abakambwe.
19
Kya mukisa omuntu bw'abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n'agumiikiriza ng'alowooza ku Katonda.
20
Ttendo ki lye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonerezebwa olw'okukola ebibi? Naye bwe mugumiikiriza mu kubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, ekyo Katonda akisiima.
21
Ekyo kye mwayitirwa, kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mumugoberere.
22
Ye takolanga kibi, tayogeranga bya bukuusa.
23
Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda asala omusango nga tasaliriza.
24
Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku musaalaba, tulyoke tufe eri ekibi, tube balamu mu butuukirivu. Ebiwundu bye, bye byabawonya.
25
Mwali muwabye ng'endiga, naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5