bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Peter 5
1 Peter 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Kaakano neegayirira abo abakulembeze mu mmwe. Nange ndi mukulembeze munnaabwe, eyalabirako ddala ku kubonyaabonyezebwa kwa Kristo, era abalirwa mu abo abaligabana ku kitiibwa ekigenda okulabika. Mbeegayirira,
2
mulunde eggana lya Katonda eryabakwasibwa. Mulirabirire nga Katonda bw'ayagala, si lwa buwaze, wabula nga mwagala. Mukole n'omwoyo ogwewaayo okuweereza, nga temululunkanira kufuna mpeera.
3
Muleme kwefuula bafuzi b'abo be mwakwasibwa, naye mube kyakulabirako gye bali.
4
Olwo omusumba omukulu bw'alirabika, muliweebwa engule eyeekitiibwa etefuma.
5
Nammwe abavubuka muwulirenga abakulu. Mwenna muweerezaganenga nga mujjudde obwetoowaze, kubanga “Katonda tayagala beekulumbaza, kyokka abeetoowaze abakwatirwa ekisa.”
6
Kale mwetoowazenga wansi w'omukono gwa Katonda ogw'amaanyi, ye alyoke abagulumize ekiseera nga kituuse.
7
Mumukwasenga byonna ebibeeraliikiriza, kubanga ye abalabirira.
8
Mwegendereze era mutunule. Omulabe wammwe Sitaani, atambulatambula ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya.
9
Mumuziyize nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi nti ne baganda bammwe abali mu nsi yonna, babonaabona nga mmwe.
10
Bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, Katonda nnannyini kisa, eyabayita okugabana awamu ne Kristo ku kitiibwa kye ekitaggwaawo, ye yennyini alibazza mu mbeera ennungi, alibanyweza, era alibawa amaanyi.
11
Oyo abe n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12
Mbawandiikidde ebbaluwa eno ennyimpi nga nnyambibwako Siluvaano owooluganda, gwe mmanyi nga mwesigwa. Ngibawandiikidde nga mbakakasa nti ekyo kye kisa kya Katonda kyennyini, era nga mbakuutira okukinywereramu.
13
Ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Babilooni, nakyo ekyalondebwa Katonda nga mmwe, kibalamusizza. N'omwana wange Mariko naye abalamusizza.
14
Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana. Emirembe gibenga nammwe mwenna aba Kristo.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5