bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Peter 4
1 Peter 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mubenga bamalirivu nga ye, kubanga omuntu abonaabona mu mubiri, aba amaze okuleka ekibi,
2
alyoke amale obulamu bwe bw'akyasigazizza ku nsi, ng'agoberera ebyo Katonda by'ayagala, sso si ebyo ebitwaliriza abantu mu bubi.
3
Mu biseera ebyayita mwafuna obudde obumala okukola ebyo abantu ab'ensi bye baagala. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw'omwenge, ne mu kusinza ebitali Katonda, sso nga kwa muzizo.
4
Kaakano abantu ab'ensi beewuunya bwe balaba nga temukyabeegattako mu bya ffujjo ng'eryo, ne babavuma.
5
Baliwoza mu maaso ga Katonda, eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu.
6
Abafu baasalirwa omusango ng'abantu abalala, nga bakyali mu bulamu obw'omubiri. Kyokka nabo baategeezebwa Amawulire Amalungi nga bamaze okufa, balyoke babe balamu mu mwoyo nga Katonda.
7
Enkomerero ya byonna eri kumpi. N'olwekyo mubenga beegendereza era beetegefu, nga mwegayirira Katonda.
8
N'okusingira ddala, mwagalanenga mu mazima, kubanga okwagala kusonyiyisa ebibi bingi.
9
Mwaniriziganenga awatali kwemulugunya.
10
Mube bawanika abalungi, Katonda be yakwasa ebirabo bye ebya buli ngeri. Buli omu ekirabo kye yafuna akikozesenga okugasa abalala.
11
Oyo ayogera, ayogere ebigambo Katonda by'amuwa okwogera. Oyo aweereza, aweereze n'amaanyi Katonda g'amuwa, mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12
Abaagalwa, bwe mugezebwa mu muliro, temwewuunyanga ng'abatuukiddwako ekitali kya bulijjo.
13
Wabula musanyukenga olw'okugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ekitiibwa kye bwe kirirabika, mulyoke mujjule essanyu.
14
Bwe muvumibwa olw'okuba abagoberezi ba Kristo, muli ba mukisa, kubanga Mwoyo oweekitiibwa, Mwoyo wa Katonda, ali mu mmwe.
15
Waleme kubaawo n'omu ku mmwe abonyaabonyezebwa nga bamulanga okuba omutemu oba omubbi, oba omukozi w'obubi, oba eyeeyingiza mu by'abalala.
16
Wabula singa omuntu abonyaabonyezebwa nga bamulanga okuba Omukristo, takwatibwanga nsonyi. Atenderezenga Katonda olw'okuyitibwa erinnya eryo.
17
Ekiseera kituuse omusango okusalibwa nga gutandikira ku ba mu nnyumba ya Katonda. Kale oba nga gutandikidde ku ffe, ku nkomerero guliba gutya ku abo abatakkiriza Mawulire Amalungi agava eri Katonda?
18
Era, “Oba nga kizibu oyo akola ebituufu okulokolebwa, oyo atassaamu Katonda kitiibwa n'omwonoonyi baliba batya?”
19
Kale nno abo ababonaabona nga Katonda bw'ayagala, bakolenga ebirungi, ng'obulamu bwabwe babukwasa Omutonzi omwesigwa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5