bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Peter 3
1 Peter 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Bwe mutyo nammwe abakazi abafumbo, muwulirenga babbammwe, abamu ku bo bwe baba nga tebakkiriza kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw'empisa zammwe ennungi, nga temulina na kye mubagambye,
2
kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennongoofu era ezibassisaamu ekitiibwa.
3
Okweyonja kwammwe kulemenga kuba mu byakungulu: mu misono gy'enviiri, n'egy'amajolobera aga zaabu, n'egy'ebyambalo,
4
naye kube kwa mu mutima munda, okweyonja okutayonooneka, okw'omwoyo omuwombeefu era omuteefu. Okwo kwe kw'omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda,
5
kubanga n'abakazi ab'edda abatukuvu, abaasuubiranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga, era nga bawulize eri babbaabwe.
6
Saara bw'atyo bwe yali. Yawuliranga Aburahamu, ng'amuyita mukama we. Oba mwagala okuba bawala be, mube ba mpisa nnungi, nga tewali kibatiisa.
7
Nammwe abasajja abafumbo, mubenga ne bakazi bammwe mu bulamu bwammwe obw'obufumbo, nga mumanyi nti bo mu kikula kyabwe banafu. Mubassengamu ekitiibwa, kubanga nabo Katonda alibakwatirwa wamu nammwe ekisa ekiwa obulamu. Olwo essaala zammwe teziibengako kiziziyiza.
8
Eky'enkomerero, mwenna mubenga n'emmeeme emu, buli omu alumirwenga munne, mwagalanenga ng'abooluganda, mubenga ba kisa era beetoowaze.
9
Oyo akoze ekibalumya, mmwe temumukolanga kibi. Abavumye, mmwe temumuvumanga, wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke mufune omukisa.
10
Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ayagala okufuna obulamu n'okubeera mu ddembe, aziyize olulimi lwe okwogera ekibi, n'emimwa gye okwogera eby'obukuusa.
11
Era yeewalenga ebibi, akolenga ebirungi. Anoonyenga emirembe, era agigobererenga,
12
kubanga abakola ebituufu, Mukama abatunuuliza kisa, era awulira bye basaba. Kyokka abakola ebibi abatunuuliza bukambwe.”
13
Bwe mwefubirira okukola ebituufu, ani anaabakola akabi?
14
Naye ne bwe mubonyaabonyezebwa olw'okukola ebituufu, mulina omukisa. Temubangako be mutya, era temweraliikiriranga.
15
Mukama wammwe Kristo mumussengamu ekitiibwa mu mitima gyammwe, era mubenga beetegefu bulijjo okuddamu buli muntu ababuuza okunnyonnyola essuubi lye mulina,
16
wabula nga muddamu n'obuwombeefu n'eggonjebwa. Mubenga n'omutima omulungi, abo ababavuma era ababoogerako obubi olw'empisa zammwe ennungi ez'abagoberezi ba Kristo, balyoke baswale.
17
Kirungi okubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, okusinga okubonyaabonyezebwa olw'okukola ebibi.
18
Ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi byaffe, n'atufiirira omulundi gumu n'amala. Ye omutuukirivu yafiirira ffe aboonoonyi, alyoke atuzze eri Katonda. Mu mubiri yattibwa, n'addizibwa obulamu mu mwoyo.
19
Era mu mwoyo, mwe yagendera okuyigiriza emyoyo egiri mu kkomera.
20
Egyo gye myoyo egy'abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng'akyabagumiikirizza, mu kiseera Noowa kye yazimbiramu eryato. Mu lyato eryo abantu abatono, bonna awamu munaana, mwe baawonyezebwa amazzi.
21
Amazzi ago gaali kabonero k'okubatizibwa, okubalokola mmwe kaakano. Okubatizibwa tekuba kunaazaako kko lya mubiri, wabula kuba kusaba Katonda atuwe omutima omulongoofu olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
22
eyalinnya mu ggulu, era aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, ng'afuga bamalayika n'ab'obuyinza n'ab'amaanyi ab'omu ggulu.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5