bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Colossians 1
Colossians 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, era n'owooluganda Timoteewo,
2
tuwandiikira mmwe abantu ba Katonda, era abooluganda abeesigwa mu Kristo, abali mu Kolosaayi. Katonda Kitaffe abakwatirwe mmwe ekisa era abawe emirembe.
3
Bulijjo twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira mmwe,
4
okuva lwe twawulira nga bwe mukkiriza Kristo Yesu, era nga bwe mwagala abantu ba Katonda bonna.
5
Ebyo byombi mubikola kubanga mulina essuubi ery'okufuna ebirungi ebibaterekeddwa mu ggulu. Essuubi eryo mwalifuna bwe mwategeezebwa ekigambo eky'amazima, ge Mawulire Amalungi
6
agagenda gabuna mu nsi yonna, era nga gakola ekyo kye gakoze mu mmwe, okuviira ddala ku lunaku lwe mwasooka okuwulira ku kisa kya Katonda, ne mukitegeerera ddala mu mazima,
7
nga bwe kyabayigirizibwa Epafura mukozi munnaffe omwagalwa, omuweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe.
8
Era ye yatutegeeza okwagala kwammwe, Mwoyo Mutuukirivu kw'abawadde.
9
Kale naffe okuva lwe twawulira ekyo, tetulekangayo kubasabira na kwegayirira Katonda, abajjuze okumanya by'ayagala, nga mubimanya mu magezi gonna, n'okutegeera okw'omwoyo.
10
Olwo mulisobola okuba nga Mukama bw'ayagala, nga mumusanyusa mu byonna. Muliba ba mugaso mu buli kirungi kye mukola, era mulyeyongera okumanya Katonda.
11
Obuyinza bwe obwekitiibwa bulibawa amaanyi gonna, musobole okugumira byonna n'obugumiikiriza, nga muli basanyufu,
12
nga bwe mwebaza Kitaffe eyabasaanyiza okuba awamu n'abantu be mu kitangaala.
13
Yatuwonya obuyinza bw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka bw'Omwana we omwagalwa,
14
eyatununula n'atusonyiwa ebibi byaffe.
15
Kristo yennyini gwe tulabiramu Katonda atalabika, era ye mwana omubereberye, akulira ebitonde byonna.
16
Ebintu byonna ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, newaakubadde entebe ez'obwakabaka, n'obufuzi bw'amatwale, wadde abakungu n'ab'obuyinza, byonna byatonderwa mu ye era ku lulwe.
17
Ye yaliwo ng'ebintu byonna tebinnatondebwa; era byonna bibeerawo mu ye.
18
Ekibiina ky'abamukkiriza gwe mubiri gwe, era ye gwe mutwe gwakyo. Ye y'entandikwa, ye mubereberye mu kuzuukira, kyava aba omubereberye mu byonna.
19
Katonda yasiima okutuukirira kwonna kubeerenga mu Kristo.
20
Era yasiima ayite mu ye okutabagana n'ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, ng'aleetawo emirembe olw'okufa kwa Kristo oyo, eyafiira ku musaalaba.
21
Nammwe edda mwali mweyawudde ku Katonda, era nga muli balabe be olw'ebirowoozo byammwe n'ebikolwa byammwe ebibi.
22
Naye kaakano Katonda yatabagana nammwe, mu mubiri gwa Kristo eyafa, alyoke abanjule nga muli batukuvu, abataliiko kamogo wadde omusango mu maaso ga Katonda.
23
Kyokka muteekwa okuba mu kukkiriza, nga muli banywevu, nga temusagaasagana, era nga temuvudde mu kusuubira kwe mwafuna mu Mawulire Amalungi ge mwawulira. Amawulire Amalungi ago, gatuusiddwa ku bantu bonna abali ku nsi, era nze Pawulo, nafuulibwa omuweereza waago.
24
Kaakano nsanyuka olw'okubonaabona kwe mbonaabonamu ku lwammwe. Era okubonaabona kwange mu mubiri, kutuukiriza ebyo ebyasigalira ku kubonaabona kwa Kristo olw'omubiri gwe, kye kibiina ky'abamukkiriza.
25
Katonda yanfuula omuweereza w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, n'ampa omulimu ogw'okumanyisiza ddala ekigambo kye ku lwammwe.
26
Ekigambo kye ekyo, kye kyama ekyali kikisiddwa eri abantu ab'emirembe egy'edda. Naye kaakano akimanyisizza abantu be.
27
Katonda yayagala okukimanyisa nga bwe kiri eky'omuwendo, era ekyekitiibwa ennyo mu mawanga. Ekyama ekyo ye Kristo ali mu mmwe, era n'ekitiibwa kye musuubira okufuna.
28
Kristo oyo gwe tumanyisa mu bantu. Tulabula, era tuyigiriza buli omu, nga tukozesa amagezi gonna, tulyoke tuleete buli muntu eri Katonda, ng'atuukiridde mu Kristo.
29
Ekyo kye nteganira, ne nfuba nga neesiga amaanyi ga Katonda ag'obuyinza, agakolera mu nze.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4