bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Colossians 4
Colossians 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Bakama b'abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe, nga muli benkanya, nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
2
Munyiikirenga okusinza Katonda, nga temuddirira, era nga mumwebaza.
3
Era naffe mutusabirenga, Katonda atuggulirewo oluggi, tutegeeze abantu ekigambo kye, tubamanyise ekyama kya Kristo. Era ekyo kye kyansibisa mu kkomera.
4
Munsabire nkitegeeze abantu mu ngeri yennyini gye nsaana okukibategeezaamu.
5
Abo abatannafuna kukkiriza, mukolaganenga nabo n'amagezi, nga mukozesa buli mukisa gwe mulina.
6
Bulijjo mwogerenga mu ngeri enyuma era esanyusa, era mumanyenga engeri gye musaana okwanukulamu buli omu.
7
Tukiko owooluganda omwagalwa, omuweereza omwesigwa era mukozi munnaffe mu mulimu gwa Mukama waffe, ajja kubategeeza byonna ebyantuukako.
8
Kyenvudde mmutuma gye muli, mumanye nga bwe tuli, era agumye emitima gyammwe.
9
Era awamu naye, ntumye Onesimo owooluganda era omwagalwa, ow'ewammwe. Bajja kubategeeza byonna ebifa eno.
10
Arisitaruuko musibe munnange, ne Mariko omujjwa wa Barunaba babalamusizza. Mariko oyo, gwe nabagambako. Bw'ajjanga gye muli mumwanirizanga.
11
Ne Yesu, ayitibwa Yusto, abalamusizza. Abo be bokka ab'omu bakomole abakola nange omulimu ogw'Obwakabaka bwa Katonda, era abanzizizzaamu ennyo amaanyi.
12
Epafura ow'ewammwe, omuweereza wa Kristo Yesu, abalamusizza. Era bulijjo abasabira nnyo, mube batuukirivu, abategeeredde ddala Katonda by'ayagala.
13
Nkikakasa nti Epafura, mmwe awamu n'ab'omu Lawodiikiya, era n'ab'omu Yerapoli, abakoleredde nnyo.
14
Lukka omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.
15
Mulamuse abooluganda ab'omu Lawodiikiya. Era mulamuse Nunfa, n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya.
16
Ebbaluwa eno bw'emala okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya. Era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodiikiya.
17
Era mugambe Arikipo nti: “Fuba okutuukiriza omulimu gwa Mukama waffe gwe wakwasibwa.”
18
Nze Pawulo, nze mpandiise n'omukono gwange okulamusa kuno. Munzijukire mu busibe bwange. Katonda abakwatirwenga mmwe ekisa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4