bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Colossians 2
Colossians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo ku lwammwe, ne ku lw'abo ab'omu Lawodiikiya, era ne ku lw'abo bonna abatandabangako.
2
Ekyo nkikola, emitima gyabwe giryoke gisanyuke, nga bassa kimu mu kwagalana, bategeerere ddala era bamanyire ddala ekyama kya Katonda. Ekyama ekyo ye Kristo.
3
Mu ye mwe mukwekeddwa amagezi gonna, n'okumanya kwonna.
4
Ekyo nkibategeeza, waleme kubaawo ababuzaabuza, ng'akozesa ebigambo ebisendasenda.
5
Newaakubadde nga siri nammwe mu mubiri, naye ndi wamu nammwe mu mwoyo, era nsanyuka okulaba nti mutebenkedde, nga muli banywevu mu kukkiriza Kristo.
6
Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mwegatte wamu naye mu bulamu bwammwe.
7
Munywerere ddala mu ye, era mukulire mu ye, nga muli banywevu mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, era temukoowanga kwebaza.
8
Mwekuumenga waleme kubaawo ababuzaabuza, n'abafuula abaddu, ng'akozesa ebigambo eby'amagezi ag'abantu obuntu agataliimu nsa, era ag'obulimba, abantu ge bayigiriza, nga bageesigamya ku buyinza bw'emisambwa, sso si ku Kristo.
9
Ddala mu Kristo, obwakatonda bwonna mwe buli.
10
Era ye akulira abafuzi n'ab'obuyinza bonna. Nammwe mu ye mwe mwafunira obulamu obujjuvu,
11
era mwakomolerwa mu ye. Temwakomolebwa bantu, wabula Kristo ye yabakomola, ng'abambulamu embeera yammwe etetabagana na Katonda.
12
Bwe mwabatizibwa mwaziikibwa wamu ne Kristo, era mu kubatizibwa mwazuukira wamu naye olw'okukkiriza obuyinza bwa Katonda eyamuzuukiza.
13
Nammwe abaali bafudde olw'ebibi byammwe n'olw'obutakomolebwa bwammwe mu mubiri, Katonda yabafuula balamu wamu ne Kristo, bwe yatusonyiwa ebibi byaffe byonna.
14
Yasazaamu era n'aggyawo endagaano eyatuwalirizanga okutuukiriza ebyo amateeka g'Ekiyudaaya bye galagira, n'agikomerera ku musaalaba.
15
Ku musaalaba ogwo kwe yawangulira abafuzi n'ab'obuyinza, n'abaggyako ebyokulwanyisa, n'abaswaza mu lwatu.
16
Kale tewabangawo abanenya olw'ebyo ebifa ku byokulya ne ku byokunywa, oba olw'ebyo ebikwata ku nnaku enkulu, ne ku kuboneka kw'omwezi, wadde ku nnaku za Sabbaato.
17
Ebyo byonna kifaananyi bifaananyi eky'ebyo ebigenda okujja. Naye ekirimu ensa ye Kristo.
18
Walemenga kubaawo babalimbalimba, nga beesigama ku kwewombeeka okw'obulimba, ne ku kusinza bamalayika, nga beesiga okulabikirwa okutaliimu. Abantu abo beekulumbaliza bwereere olw'ebirowoozo byabwe eby'abantu obuntu,
19
era baba tebakyali ku Kristo omutwe, aliisa omubiri gwonna, n'agatta ennyingo n'ebinywa byagwo, ne gukula nga Katonda bw'ayagala gukule.
20
Mwafiira wamu ne Kristo ne muwona obuyinza bw'emisambwa, obufuga ensi. Kale lwaki ate muyisa ng'abakyafugibwa ensi, ne mukkiriza okuweebwa ebiragiro nga bino:
21
“Tokwatanga ku kino; tokombanga ku ekyo; kiri tokikoonangako”?
22
Ebyo byonna okubikola, tekiriiko kye kigasa. Okwo kuba kugoberera biragiro n'okuyigiriza okw'abantu obuntu.
23
Weewaawo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri y'okusinza Katonda, abantu gye beegunjirawo bokka, ne mu kwewombeeka okw'obulimba, era ne mu kubonereza omubiri. Naye tebiriiko kye bigasa mu kufuga okwegomba kw'omubiri.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
Recommended Reading
Commentary
Colossians Commentaries
→
Devotional
Colossians Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→