bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Colossians 3
Colossians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Mwazuukira wamu ne Kristo. N'olwekyo mulowoozenga ku biri mu ggulu, Kristo gy'atudde ng'aliraanye Katonda, mu kifo ekisinga eby'abalala ekitiibwa.
2
Mulowoozenga ku bya mu ggulu, sso si ku bya ku nsi,
3
kubanga mwafa, era obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.
4
Kristo, obulamu bwammwe, bw'alirabika, olwo nammwe mulirabikira wamu naye mu kitiibwa.
5
Kale mutte okwegomba okubi okuli mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, obukaba, okwegomba okw'ensonyi, n'omululu, kwe kusinza ebitali Katonda.
6
Katonda asunguwalira abamujeemera ne bakola ebyo.
7
Era nammwe ebyo bye mwakolanga edda mu bulamu bwammwe.
8
Naye kaakano bino byonna mubireke: obusungu, ekiruyi, n'ettima. Okuvvoola era n'emboozi embi biremenga kuva mu kamwa kammwe.
9
Temulimbagananga, kubanga mweyambula obulamu obukadde n'ebikolwa byabwo ebibi,
10
ne mwambala obulamu obuggya, oyo eyabatonda bw'agenda ayongera okuzza obuggya mu kifaananyi kye, mulyoke mumutegeere bulungi.
11
Olwo waba tewakyali kwawulamu Muyonaani na Muyudaaya, mukomole n'atali mukomole, munnaggwanga, atali mugunjufu, muddu oba ow'eddembe, wabula Kristo ye byonna, era ye ali mu byonna.
12
Muli batukuvu, abaagalwa era abalondemu ba Katonda. N'olwekyo mubenga n'omwoyo ogusaasira, mubenga n'ekisa, n'obwetoowaze, n'obuteefu, era n'okugumiikiriza.
13
Mugumiikirizaganenga era musonyiwaganenga buli lwe wabangawo alina kye yeemulugunyiza munne. Muteekwa okusonyiwagana mu ngeri ye emu nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe.
14
Era ku ebyo byonna, mwongereeko okwagalana. Okwo kwe kunyweza ebintu byonna awamu, mu kutabagana okujjuvu.
15
Emirembe gya Kristo gy'agaba, era Katonda gye yabayitira okuba awamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu, giramulenga mu mitima gyammwe; era mwebazenga.
16
Ekigambo kya Kristo, mu bugagga bwakyo bwonna, kibeerenga mu mitima gyammwe. Muyigirizaganenga era mubuuliriraganenga mu magezi gonna. Nga mujjudde okwebaza mu mitima gyammwe, Katonda mumuyimbire zabbuli, n'ennyimba, n'ebiyiiye, Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya.
17
Buli kintu kye mwogera oba kye mukola, mukikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
18
Abakazi muwulirenga babbammwe, ng'abakkiriza Mukama waffe bwe basaana okukola.
19
Abasajja mwagalenga bakazi bammwe, era temubakambuwaliranga.
20
Abaana, bazadde bammwe mubawulirenga mu byonna, kubanga ekyo kisanyusa Mukama waffe.
21
Bakitaabwe b'abaana, temukaluubirizanga baana bammwe okutuuka okwenyiwa, sikulwa nga baterebuka.
22
Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubawulirenga mu byonna, si lwa kulabibwa kyokka, ng'abaagala okusiimibwa abantu, naye mubaweerezenga n'omutima ogutaliimu bukuusa, nga mussaamu Mukama waffe ekitiibwa.
23
Buli kye mukola, mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abakolera Mukama waffe, sso si ng'abakolera abantu.
24
Mumanye nti mulifuna empeera, Mukama waffe gye yasuubiza. Kristo ye Mukama wammwe gwe muweereza.
25
Oyo akola ekibi, alibonerezebwa olw'ekibi kye yakola, kubanga tewaliba kusaliriza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4