bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jonah 1
Jonah 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Awo Mukama n'ayogera ne Yona, mutabani wa Amittayi, n'agamba nti:
2
“Situka ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire nti mmanyi abantu baamu nga bwe bali aboonoonyi ennyo.”
3
Kyokka Yona n'asituka okuddukira e Tarusiisi, ave mu maaso ga Mukama. N'aserengeta e Yoppa, n'asangayo emmeeri egenda e Tarusiisi, n'asasula ebisale, n'asaabala omwo, agende nabo e Tarusiisi, ave mu maaso ga Mukama.
4
Naye Mukama n'akunsa omuyaga ku nnyanja, ne guba gwa maanyi nnyo, emmeeri n'eyagala okumenyeka.
5
Abavuzi baayo ne batya, buli omu n'akoowoola lubaale we amuyambe. Ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu mmeeri, bagiwewule ku buzito. Naye Yona yali mu kisenge ekya wansi mu mmeeri, ng'agalamidde, yeebase otulo.
6
Awo omugoba w'emmeeri n'ajja w'ali, n'amugamba nti: “Owange, obadde ki ggwe eyeebase? Golokoka, osabe lubaale wo, oboolyawo anaatusaasira, ne tutazikirira.”
7
Awo ne bagambagana nti: “Ka tukube akalulu, tutegeere atuleetedde akabi kano.” Ne bakuba akalulu, ne kalondamu Yona.
8
Ne bamugamba nti: “Kale tubuulire atuleetedde akabi kano. Okola mulimu ki? Ova wa? Oli wa nsi ki? Oli wa ggwanga ki?”
9
Yona n'abagamba nti: “Ndi Mwebureeyi. Nsinza Mukama Katonda ow'omu ggulu, eyakola ennyanja n'olukalu.”
10
Era n'ababuulira nti yali adduse, ave mu maaso ga Mukama. Ekyo bwe baakimanya, ne batya nnyo, ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze?”
11
Ennyanja yali egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo. Awo ne bamugamba nti: “Tukukole ki ennyanja eryoke eteeke?”
12
Yona n'agamba nti: “Munsitule munsuule mu nnyanja, olwo ennyanja ejja kuteeka, kubanga mmanyi nga nze mbaviiriddeko okulumbibwa omuyaga guno ogw'amaanyi.”
13
Naye bo ne bafuba nnyo okuvuga emmeeri okugoba ku ttale, kyokka ne balemwa, kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka, n'ebalemesa.
14
Kyebaava bakoowoola Mukama nti: “Tukwegayiridde, ayi Mukama, totuzikiriza olw'okuggyawo obulamu bw'omuntu ono, era totuvunaana kutta muntu ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Mukama, ggwe oyagadde kibe bwe kityo.”
15
Awo ne basitula Yona, ne bamusuula mu nnyanja, ennyanja n'eteeka.
16
Ne batya nnyo Mukama, ne bamuwa ekitambiro era ne beeyama okumuweerezanga.
17
Mukama n'asindika ekyennyanja ekinene, ne kimira Yona, Yona n'amala mu lubuto lw'ekyennyanja ennaku ssatu emisana n'ekiro.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4