bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jonah 3
Jonah 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Awo Mukama n'ayogera ne Yona omulundi ogwokubiri,
2
n'agamba nti: “Situka ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire obubaka bwe nkuwa.”
3
Awo Yona n'asituka, n'alaga e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Nineeve kyali kibuga kinene nnyo, nga kya lugendo lwa nnaku ssatu okutambula okukiyitamu.
4
Yona n'atandika okuyita mu kibuga. Bwe yatambulako olugendo lwa lunaku lumu, n'alangirira nti: “Esigadde ennaku amakumi ana, Nineeve kizikirire!”
5
Abantu b'e Nineeve ne bakkiriza obubaka bwa Katonda ne balangirira okusiiba. Ne bambala ebikutiya, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto.
6
Kabaka w'e Nineeve bwe yabiwulira, n'asituka ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ekikutiya, n'atuula mu vvu.
7
N'aweereza ekirangiriro wonna mu Nineeve nti: “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: tewaba n'omu abaako k'alya wadde k'anywa, k'abe muntu, oba ente, oba endiga, wadde ensolo endala yonna.
8
Abantu bambale ebikutiya, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu alekeyo empisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi.
9
Oboolyawo Katonda anaakyusa ekirowoozo kye, n'alekayo obusungu bwe obukambwe, ne tutazikirira.”
10
Katonda n'alaba bye bakoze, era nga bwe baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa ekirowoozo kye, n'atababonereza, nga bwe yali agambye okubabonereza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4