bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jonah 4
Jonah 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Naye Yona n'atasiima n'akatono, n'asunguwala.
2
Ne yeegayirira Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama, saayogera nga nkyali mu nsi y'ewaffe nti ekyo kyennyini ky'olikola? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Tarusiisi, kubanga namanya ng'oli Katonda wa kisa, era omusaasizi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi era eyeetegese bulijjo okukyusa ekirowoozo kyo, n'otobonereza.
3
Kale kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, ndeka nfe, kubanga kirungi nfe okusinga okuba omulamu.”
4
Mukama n'addamu nti: “Ggwe olowooza nti oli mutuufu okusunguwala?”
5
Awo Yona n'afuluma ekibuga, n'atuula ku ludda lwakyo olw'ebuvanjuba, ne yeekolera eyo ekisiisira, n'atuula mu kisiikirize kyakyo, n'alinda okulaba ebinaatuuka ku kibuga Nineeve.
6
Awo Mukama Katonda n'ameza ekimera, n'akirandiza waggulu w'ekifo Yona we yali, kimuwe ekisiikirize, kimusanyuse. Yona n'asanyuka nnyo olw'ekimera ekyo.
7
Naye obudde bwe bwakya enkya, Katonda n'asindika ekiwuka, ne kiruma ekimera ekyo, ekimera ne kiwotoka.
8
Enjuba bwe yavaayo, Katonda n'asindika embuyaga ey'omu buvanjuba, ey'ebbugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe, n'abulako katono okuzirika. Ne yeesabira afe, n'agamba nti: “Kirungi nfe, okusinga okuba omulamu!”
9
Katonda n'agamba Yona nti: “Ggwe olowooza nti oli mutuufu okusunguwala olw'ekimera?” Yona n'addamu nti “Kituufu nze okusunguwala, era obusungu bwagala kunzita!”
10
Mukama n'agamba nti: “Olumirwa ekimera ky'ototeganidde, era ky'otaalandiza, ekyameze mu kiro ekimu, ne kifa mu kiro ekiddiridde.
11
Kale nze sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekinene, omuli abaana abato abasoba mu mitwalo ekkumi n'ebiri, abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, era omuli n'ensolo ennyingi?”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4