bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jonah 2
Jonah 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Awo Yona n'asinza Mukama, Katonda we, ng'asinziira mu lubuto lw'ekyennyanja,
2
n'agamba nti: “Bwe nali mu buzibu, ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n'onziramu. Nasinziira emagombe ne nkukoowoola, n'ompulira.
3
Wansuula mu buziba wakati mu nnyanja, amazzi ne ganneetooloola, amayengo go ag'amaanyi ne gampita kungulu.
4
Ne ŋŋamba nti: ‘Ngobeddwa mu maaso go. Ndiddayo ntya okulaba ku Ssinzizo lyo ettukuvu?’
5
Amazzi gansaanikira ne gaagala okunzita! Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola, omuddo ogw'omu nnyanja gwezingirira ku mutwe gwange.
6
Nakka wansi ensozi we zisibuka, mu nsi, enzigi zaayo gye ziba ensibe ennaku zonna. Naye ggwe, ayi Mukama Katonda wange, n'onzigya mu bunnya nga ndi mulamu.
7
Bwe nawulira ng'obulamu bunzigwamu ne nzijukira okukusaba, ayi Mukama, n'owulira kye nkusaba, ng'oli mu Ssinzizo lyo ettukuvu.
8
Abo abeemalira ku by'obulimba ebitaliimu nsa, beggya ku ggwe eyandibasaasidde.
9
Naye nze nja kukuwa ekitambiro nga bwe nkutendereza. Era nja kutuukiriza bye nasuubiza. Mukama ye alokola.”
10
Awo Mukama n'alagira ekyennyanja, ne kisesema Yona ku lukalu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4