bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Timothy 1
2 Timothy 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Pawulo, omutume wa Kristu Yezu olw'okwagala kwa Katonda n'okusinziira ku kisuubizo ky'obulamu obuli mu Kristu Yezu;
2
ya Timotewo, mutabani omwagalwa: eneema, okusaasira n'eddembe okuva ewa Katonda Taata ne Kristu Yezu Mukama waffe.
3
Neebaza Katonda, oyo gwe mpeereza n'emmeeme entereevu nga bajjajjange bwe baakola, bwe nkujjukira obutasalako mu ssaala zange emisana n'ekiro.
4
Bwe nzijukira amaziga go, ne njagala okujja okukulaba nzijule essanyu.
5
Nzijukira n'okukkiriza kwo okwesimbu, okwo okwasookera mu jjajjaawo Loyi ne mu nnyoko Ewunisi, ate kati kwe nkakasa nti ne mu ggwe mwekuli.
6
Kyenva nkujjukiza okukoleeza obuto ekirabo kya Katonda kye wafuna ng'ossibwako emikono gyange.
7
Katonda teyatuwa mwoyo gwa butiitiizi, wabula Mwoyo ow'amaanyi, okwagala n'okwefuga.
8
Awo nno tokwatirwanga nsonyi kujulira Mukama oba nze omusibe we, wabula gabana ku bizibu olw'okubeera Evangili okusinziira ku maanyi ga Katonda
9
eyatulokola, n'atuyita mu kuyitibwa okutukuvu, si lwa kubeera bikolwa byaffe ku bwaffe, wabula olw'okubeera entegeka ye n'eneema ye. Eneema eno yatuweebwa dda mu Kristu Yezu, ng'obudde tebunnabaawo,
10
naye yayolekebwa luno ku kulabika kwa Mulokozi waffe Kristu Yezu, eyaggyawo olumbe n'alaga obutafa n'obulamu ng'ayita mu Vangili,
11
gye nalonderwa ng'omulangirizi, omutume era omuyigiriza.
12
Kyenva mbonyaabonyezebwa bino byonna, naye sikwatibwa nsonyi kubanga gwe nakkiriza mmumanyi, era ndi mumativu nti asobola okunkuumira bye namukwasa okutuusa ku lunaku olwo.
13
Nywerera ku bigambo ebituufu bye wawulira okuva mu nze; bitwale ng'ekyokulabirako, osigale mu kukkiriza ne mu kwagala ebiri mu Kristu Yezu.
14
Labirira ekintu ekyo eky'omuwendo ekyakukwasibwa mu Mwoyo Mutuukirivu asula mu ffe.
15
Nga bw'omanyi, abalala bonna mu Aziya banjabulidde, omuli ne Fugelo ne Erumogeno.
16
Omukama abeere wa kisa eri amaka ga Onesiforo, kubanga ambeeredde kikubagizo bulijjo era takwatirwanga njegere zange nsonyi.
17
Wabula ng'atuuse e Roma yanyiikira okunnoonya okutuusa lwe yanzigukako.
18
Omukama amuwe asange ekisa ky'Omukama ku lunaku olwo. Omanyi bulungi engeri gye yampeerezaamu mu Efezi.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4