bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Timothy 3
2 Timothy 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Naye manya nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu:
2
abantu baliba beefaako bokka, baagazi ba ssente, beepansi, ba lunkulu, bavuma, tebawulira bazadde baabwe, ntasiima, omutali butuukirivu,
3
abataliimu kwagala, abatasonyiwa, abawaayiriza, abateefuga, abakambwe, abakyawa ekirungi,
4
ab'enkwe, nga badumi, beekuza, banoonyi b'amasanyu mu kifo ky'okunoonya Katonda;
5
nga beeyisa ng'abasomi, sso ng'eddiini tebakkiriza maanyi gaayo. Abo beesambire ddala.
6
Abamu ku bano basensera amayumba ne bakwasa abakazikazi, abeebinise ebibi, abatwalibwa amaddu aga buli ngeri,
7
bulijjo abagezaako okuyiga naye abatasobola kutuuka ku kumanya mazima.
8
Nga Yanne ne Yambure bwe baawakanya Musa, na bano bwe bawakanya amazima, abantu abagwagwawadde, okulabira ku kukkiriza, abatakyabalibwa.
9
Naye tebajja kutuuka wala, kubanga obusiru bwabwe bujja kweraga abantu bonna, nga bwe kyali ku bali ababiri.
10
Naye ggwe ogoberedde enjigiriza yange, enneeyisa, ekigendererwa, okukkiriza, obugumiikiriza, okwagala, okuguma,
11
okuyigganyizibwa, okubonaabona, nga bwe byantuukako mu Antiyokiya, Yikoniyo ne Lisitura; ebyo bye bibonoobono bye nagumira. Kyokka Omukama yamponya mu bino byonna.
12
Go amazima gali nti buli alyagala okuba omusomi mu Kristu Yezu, aliyigganyizibwa.
13
Naye abantu ababi n'abalimba balyeyongera bubi, nga balimba nabo nga bwe balimbibwa.
14
Naye ggwe sigala kw'ekyo kye wayiga n'omatira, ng'omanyi baani be wakiyigako,
15
era ng'okuva mu buto omanyi Ebiwandiiko Ebitukuvu, ebisobola okukuwa amagezi ag'okulokoka okuva mu kukkiriza Kristu Yezu.
16
Ebiwandiiko byonna ebitukuvu byafuuyirirwa Katonda, era bigasa mu kuyigiriza, mu kusimba ensonga, mu kugolola, ne mu kutendeka mu butuukirivu,
17
olwo omuntu wa Katonda alyoke abeere ng'ajjuuliridde, ng'atendekeddwa okukola buli mulimu mulungi.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4