bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Timothy 2
2 Timothy 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Awo nno, mwana wange, beera wa maanyi mu neema eri mu Kristu Yezu.
2
Bye wawulira okuva mu nze mu maaso g'abajulirwa abangi, bikwase abantu abeesigwa abalisobola okubiyigiriza abalala.
3
Okubonaabona kugabaneko n'obuvumu ng'omutabaazi omulungi owa Kristu Yezu.
4
Omutabaazi, bw'aba ku lutabaalo, ate teyeeyingiza mu mitawaana gya bulamu bwa bulijjo, asobole okusanyusa oyo eyamuwandiisa mu butabaazi.
5
Era n'omuzannyi ayeenyigira mu mpaka, engule ey'obuwanguzi tagifuna okuggyako ng'agoberedde amateeka.
6
N'omulimi omunyiikivu ye yandisaanye okusooka okugabana ku makungula.
7
Weebuulirire ku bye njogedde, olwo Omukama alikuwa okutegeera mu buli kintu.
8
Jjukira Yezu Kristu, eyazuukira mu bafu, ava mu lulyo lwa Dawudi, eyo ye Vangili yange,
9
eyo gye mbonaabonera n'okutuusa okusibibwa enjegere ng'omubbi. Naye kyo ekigambo kya Katonda kasita tebakisibye.
10
N'olw'ekyo ŋŋumira buli kimu olw'okubeera abalondemu, nabo bafune okulokoka okuli mu Kristu Yezu era n'ekitiibwa eky'olubeerera.
11
Ekyogerwa kino kya mazima, nti: Oba twafa wamu naye, tulibeera wamu naye;
12
bwe tugumiikiriza, tuliramula wamu naye. Bwe tumwegaana, naye alitwegaana.
13
Ffe bwe tutaba beesigwa, ye asigala mwesigwa, kubanga tasobola kwegaana ky'ali.
14
Bajjukize ebintu bino, obakuutire mu maaso ga Katonda balekere awo okukaayana ku bigambo. Kino tekiganyula, wabula kittattana buttattanyi abo abawuliriza.
15
Nyiikira okweraga mu maaso ga Katonda ng'omukozi atalina kimukwasa nsonyi, awa obulungi mu mazima ekigambo ky'amazima.
16
Weewale emboozi omubula ensa omutali ddiini, kubanga zongera bwongezi abantu ng'abo mu bukafiiri,
17
n'enjigiriza yaabwe egenda ebuna nga kookolo. Mu bo mwe muli Yimenewo ne Fileto,
18
abaayawukana ku mazima, abagenda bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, ne batabula okukkiriza kw'abamu.
19
Kyokka gwo omusingi omugumu ogwa Katonda gukyanywedde; guliko akabonero kano nti: “Omukama amanyi ababe,” era nti: “Buli omu akoowoola erinnya ly'Omukama yeewale obugwenyufu.”
20
Mu nnyumba ennene mubaamu ebibya, si bya zaabu na ffeeza byokka, naye n'eby'emiti n'eby'ebbumba; ebimu bikozesebwa mirimu gya kitiibwa, ebirala mu mirimu egitali gya kitiibwa.
21
Singa oli yeetukuzaako ebitali bya kitiibwa, aba kibya eky'ekitiibwa, ekitukuziddwa, ekitegekeddwa okweyambisibwa nnannyinimu, ekisaanira buli mulimu omulungi.
22
Awo nno vva mu kwegomba okw'ekivubuka, weefubirire obutuukirivu, okukkiriza, okwagala n'eddembe, wamu n'abo abakowoola Omukama n'omutima omutukuvu.
23
Weewale ebibuuzo eby'ekisiru n'obutamanya; omanyi nti bireeta nnyombo.
24
Omuweereza w'Omukama teyandiyombye, wabula yandibadde wa kisa eri buli muntu, muyigiriza mulungi era omugumiikiriza,
25
agolola n'ekisa abamuwakanya, oboolyawo Katonda n'abawa okwenenya, ne basobola okumanya amazima,
26
era ne basobola okuddamu ak'obuntu, ne beetakkuluza mu mutego gwa Sitaani eyabawamba okubakozesa ky'ayagala.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4