bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Timothy 4
2 Timothy 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Nkukuutirira ddala mu maaso ga Katonda n'aga Kristu Yezu aliramula abalamu n'abafu ku lunaku lw'okulabika kwe n'olw'obwakabaka bwe,
2
langirira ekigambo, kinyiikirire we kisanyusiza ne we kitasanyusiza, nnyonnyola, komako, gumya wabula ng'oyigiriza n'obugumiikiriza bwonna.
3
Kubanga akadde kalijja abantu nga tebakyagumiikiriza njigiriza nnamu, wabula, olw'ebyo bo bye baagala, balyetuumira abayigiriza aboogera ebisanyusa amatu gaabwe,
4
ne balekera awo okuwuliriza amazima, ne badda ku nfumo.
5
Naye ggwe ba mukalangufu obudde bwonna, gumiikiriza ebizibu, kola ogw'okuyigiriza Evangili, tuukiriza obuweereza bwo.
6
Kubanga nze ka ŋŋambe nti naweebwayo dda ng'ekitone eky'okuyiwa, n'akadde kange katuuse nsitule.
7
Olutalo olulungi ndulwanye, embiro nzimalirizza, okukkiriza nkukuumye.
8
N'okuva kati engule ey'obutuukirivu entegekeddwa, eyo Omukama, omulamuzi omwenkanya, gy'alimpa ku lunaku olwo, ate si nze nzekka, naye n'abo bonna abaagadde okulabika kwe.
9
Yanguwa onneegatteko mangu,
10
Kubanga Dema, olw'okwagala ensi eno, yanjabulira n'alaga e Tessalonika, ye Kuresike n'agenda e Galasiya, ate Tito e Dalumatiya.
11
Luka yekka y'ali nange; ddira Mariko ojje naye, kubanga angasa nnyo mu kuweereza.
12
Nsindise Tukiko e Efezi.
13
Bw'obanga ojja, oleetanga omunagiro gwe naleka ne Karupo mu Turowa, n'emizingo, naddala egy'amaliba.
14
Alekisanduro omuweesi w'ekikomo yankola akabi kanene; Omukama alimusasula ng'ebikolwa bye bwe bigwanira.
15
Naawe mwegendereze, kubanga awakanya nnyo bye twogera.
16
Bwe nali neewozaako ogwasooka, tewali yajja kumpolereza; buli omu yanjabulira. Kale, kino kireme kubavunaanibwa!
17
Naye Omukama yali nange, n'ampa amaanyi, okulangirira Evangili kutuuke ku bujjuvu nga kuyita mu nze, ab'amawanga bonna bagiwulire. Ne mponyezebwa bwe ntyo mu kamwa k'empologoma.
18
Omukama alimponya buli kabi konna n'antuusa mirembe mu bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Oyo aweebwe ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
19
Prisika ne Akwila n'ab'omu maka ga Onesiforo bandabire.
20
Erasto yasigala mu Korinti, ate Turofimo ne mmuleka mu Mileto.
21
Gezaako okutuuka eno ng'obudde obw'obutiti tebunnaba. Ewubulo, Pudeni, Lino, Kulawudiya n'abooluganda bonna babatumidde.
22
Omukama abeere n'omwoyo gwo! Eneema ebeere nammwe mwenna!
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4