bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Colossians 1
Colossians 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Pawulo, Omutume wa Kristu Yezu olw'okusiima kwa Katonda, ne Timotewo owooluganda.
2
Ya batuukirivu era abooluganda abakkiriza Yezu Kristu abali e Kolossi. Eneema ebeere nammwe ko n'emirembe okuva ewa Katonda Kitaffe.
3
Bulijjo twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yezu Kristu, buli lwe tubasabira,
4
Kubanga twawulira ku kukkiriza kwammwe kwe mulina mu Yezu Kristu, n'okwagala kwe mulina ku batuukirivu bonna,
5
olw'okubeera essuubi eribategekeddwa mu ggulu. Ebyo mwabiwulirako mu kigambo eky'amazima, ye Vangili,
6
eyabatuukako, nga bwe yatuuka mu nsi yonna, n'ebala ebibala n'okutinta nnyini. Bwe kyali n'ewammwe okuva ku luli lwe mwayiga ne mutegeera eneema ya Katonda mu mazima,
7
nga bwe mwagiyiga okuva ku Epafura muweereza munnaffe omwagalwa, eyakola mu kifo kyange n'obwesige, ng'omuweereza wa Kristu.
8
Ye yatutegeeza ku kwagala kwe mulina mu Mwoyo.
9
Kale nno okuva lwe twawulira, tetutadde kwegayirira nga tubasabira Katonda abajjuze okumanya ky'ayagala mu buli magezi n'okutegeera eby'omwoyo,
10
mulyoke muyise nga bwe kisaanidde Omukama, nga mumusanyusa mu byonna; mubale ebibala mu buli mulimu mulungi, mukule mu kumanya Katonda;
11
mugumizibwe n'amaanyi gonna ag'obuyinza bwe obw'ekitiibwa, musobole okugumiikiriza byonna n'essanyu nga temwekaanya,
12
nga mwebaza Katonda Taata olw'okutugwanyiza okugabana ku busika bw'abatuukirivu abali mu kitangaala,
13
oyo eyatuggya mu buyinza bw'ekizikiza n'atuteeka mu bwakabaka bw'Omwana we omwagalwa,
14
mu ye mwe twanunulirwa, kye kisonyiwo ky'ebibi byaffe.
15
Ye kye kifaananyi kya Katonda atalabika; omuggulanda mu bitonde byonna;
16
anti mu ye byonna mwe byatonderwa, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, ebirabika n'ebitalabika, ne nnamulondo, abafuzi, abakungu n'ab'obuyinza; byonna byatondebwa mu ye era ku lulwe.
17
Ye yasooka byonna; mu ye byonna mwe binywerera awamu.
18
Ye gwe mutwe gw'omubiri, Ekleziya; ye ge masooka, omuggulanda mu baafa, mu byonna abeere omubereberye.
19
Mu ye obujjuvu bwa Katonda bwonna mwe bwasiima okubeera;
20
ayite mu ye byonna okubitabaganya naye, ebiri mu nsi n'ebiri mu ggulu, ng'azzaawo emirembe n'omusaayi ogw'oku musaalaba gwe.
21
Nammwe edda mwali mubooleddwa, nga mu mutima muli balabe olw'ebikolwa ebibi bye mwakolanga.
22
Naye kati mu kufa kwe abatabaganyizza nga yeeyamba omubiri gwe ogufa, alyoke abanjuleyo nga muli batukuvu, temuliiko bbala, yadde ekibavunaanibwa mu maaso ge,
23
kasita musigala mu kukkiriza, nga muli banywevu, temusagaasagana, nga tewali kibaggya ku ssuubi lye mwafuna mu Vangili gye mwawulira, ebuuliddwa buli kitonde ekiri wansi w'eggulu, era nze Pawulo gye nafuuka omuweereza waayo.
24
Na kati nsanyukira mu nnaku ze ndaba olw'okubeera mmwe; bwe ntyo mu mubiri gwange ne mmaliriza ebikyabula ku kubonaabona kwa Kristu kwe yabonaabonamu olw'okubeera omubiri gwe, ye Ekleziya.
25
Anti nafuulibwa muweereza w'Ekleziya olw'omulimu Katonda gwe yankwasa ku lwammwe ogw'okumanyisa mu bujjuvu ekigambo kya Katonda;
26
kye kyama ekibadde ekikise ebiro n'amazadde, naye kati ekibikkuliddwa abatuukirivu be.
27
Katonda yayagala okubamanyisa ng'ekyama kino bwe kiri ekigagga era eky'ekitiibwa mu ab'amawanga, ye Kristu mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa.
28
Oyo gwe tulangirira, nga tukoma ku buli muntu, nga tuyigiriza buli muntu n'amagezi gonna, tulyoke buli omu tumwanjule nga mutuufu atuukiridde mu Kristu.
29
Ekyo kye nteganako, ne nfuba nga bw'annyamba n'amaanyi ge agakola mu nze n'obuyinza.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4