bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Colossians 3
Colossians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Kale nno, oba mwazuukizibwa ne Kristu, munoonye ebiri waggulu eyo Kristu gy'ali ng'atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda.
2
Mufe ku bya waggulu, naye si ku bya ku nsi.
3
Anti mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa ne Kristu mu Katonda.
4
Kristu nno obulamu bwammwe bw'alirabika, olwo nammwe ne mulabika wamu naye mu kitiibwa.
5
Mutte buli kya nsi ekibalimu: obwenzi, obuseegu, amaddu, okwegomba okubi, n'okululunkanira ebintu, leero ekiba okusinza ebitaliimu.
6
Olwa bino obusungu bwa Katonda kyebunaava bujja.
7
Nammwe luli bino mwe mwatambuliranga bwe mwali mukyabirimu.
8
Kati ebyo byonna mubisse ebbali: obusungu, ennyiike, okuwaayiriza, okuvuma n'enjogera embi eziva mu kamwa kammwe.
9
Temulimbagananga, anti ng'obw'omuntu bwe mwalina edda n'empisa zaakwo mwabyeyambula
10
ne mwambala obw'omuntu obuggya, obugenda buzzibwa obuggya mu kumanya ne mu nfaanana y'Omutonzi waabwo.
11
Awo tewaba ono Mugereeki, ono Muyudaaya, ono mutayirire ono si mutayirire, ono mugwira, ono si mugunjufu, ono muddu, ono mwana wa ddembe; wabula Kristu ye byonna mu byonna.
12
Mmwe nno Katonda be yalonda, abatuukirivu ate abaganzi, mwambalenga omutima omusaasizi, ekisa, obwetoowaze, obuteefu, obugumiikiriza;
13
mulekeraganenga, era musonyiwaganenga nga wabaddewo alina ekigambo ku munne; ng'Omukama bwe yabasonyiwa, nammwe bwe muba mukola.
14
Kungulu kwa bino byonna mwambalirengako okwagala, kye kifundikwa ekisibira byonna awamu mu butuukirivu.
15
Eddembe lya Kristu libeere mu mitima gyammwe; anti ekyo kye mwayitirwa ng'omubiri ogumu; mwebazenga.
16
Ekigambo kya Kristu kibukale mu mmwe mu bugagga bwakyo bwonna. Buli omu ayigirize munne, abuulirire munne mu magezi gonna. Muyimbirenga Katonda mu mitima gyammwe zabbuli, amatendo n'ennyimba entukuvu nga mwebaza.
17
Buli kye mukola, kibeere mu bigambo oba mu bikolwa, mukikolenga mu linnya lya Mukama Yezu, nga mwebaza Katonda Taata nga muyita mu ye.
18
Abakazi, mugondere babbammwe nga bwe kigwanidde mu Mukama.
19
Abasajja, mwagale bakazi bammwe, temubakambuwaliranga.
20
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu buli kintu, kubanga ekyo kisanyusa Omukama.
21
Abazadde, temunyiizanga baana bammwe, sikulwa nga baggwaamu omutima.
22
Abaddu, muwulirenga mu buli kintu bakama bammwe ab'oku nsi, si lwa kulabibwa, kyenkana ng'abanoonya okutendebwa abantu, naye mukozenga mutima gumu nga mutya Omukama.
23
Kyonna kye mukola, mukikozenga kwagala ng'abakolera Omukama, abatakolera bantu buntu,
24
nga mumanyi nti mulifuna obusika ng'empeera yammwe okuva ew'Omukama, anti Omukama Kristu gwe muweereza.
25
Akola obubi alisasulibwa olw'ensobi ze yakola, ate tewali kusosola.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4