bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Colossians 4
Colossians 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Abakama, abaddu bammwe mubayisenga bulungi mu bwenkanya, anti mumanyi nga nammwe mu ggulu mulinayo Omukama.
2
Munyiikire okwegayirira; nga mwegayirira mutunule era mwebaze.
3
Naffe mutusabire Katonda atuggulirewo oluggi ku lw'ekigambo, tusobole okulangirira ekyama kya Kristu ekyansibisa mu njegere,
4
nkyolese nga njogera nga bwe nteeekeddwa okwogera.
5
Mweyise na magezi n'abo abagwira, nga muggya omugaso mu budde buno.
6
Enjogera yammwe ebeere ya ssimbo, ennungemu omunnyo, mulyoke mumanye engeri gye musaanye okwanukula buli omu.
7
Tukiko, owooluganda omwagalwa, omukozi omwesigwa, muweereza munnange mu Mukama, ajja kubategeeza byonna ebinfaako.
8
Mmubasindikidde olw'ensonga eno, mumanye ebitufaako, akubagize n'emitima gyammwe,
9
wamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku mmwe. Bajja kubategeeza byonna ebifa eno.
10
Aristariko, musibe munnange, abatumidde; ne Mariko muganda wa Barunaba, gwe mwaweerwako ebiragiro - bw'atuukanga eyo, mumwanirizanga;
11
ne Yezu gwe baakazaako erya Yusito. Bano be bokka abava mu batayirire mu abo bwe tukola omulimu gw'obwakabaka bwa Katonda; babadde kikubagizo gye ndi.
12
Epafura, omu ku mmwe, omuweereza wa Kristu Yezu, abatumidde; ono bulijjo abalwanirira mu ssaala ze muleme kugwa, wabula mutuukirire bulungi era munywere ddala ku ekyo Katonda ky'ayagala.
13
Nnyinza okumujulira nti abalumirwa nnyo, n'ab'e Lawodikeya n'ab'e Yiyerapoli.
14
Luka omusawo omwagalwa ne Dema babatumidde.
15
Mundabire abooluganda abali e Lawodikeya, ne Nimfa n'Ekleziya eri mu maka ge.
16
Ebbaluwa eno bw'emalanga okusomebwa ewammwe, mugisome ne mu Ekleziya y'ab'e Lawodikeya, ate nammwe musome eva e Lawodikeya.
17
Mugambe Arikippo nti: “Wekkaanye, laba nti omulimu gwe wafuna mu Mukama ogutuukiriza.”
18
Okulamusa kuno nze nkuwandiise nzennyini Pawulo mu mukono gwange. Mujjukire enjegere zange. Eneema ebeere nammwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4