bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Colossians 2
Colossians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Ggwe wamma njagala mumanye nga bwe mbalafuubanidde, mmwe n'ab'e Lawodikeya, n'abalala bonna abatandabangako,
2
emitima mu bo gikubagizibwe, nga bayungiddwa wamu mu kwagala, batuuke ku kwagala obugagga bwonna obuva mu kubeera n'okutegeera okukakafu, basobole okumanya ekyama kya Katonda, ekya Kristu,
3
omukwekeddwa enkuluze zonna ez'amagezi n'okumanya.
4
Kino nkyogedde waleme kubaawo abalimbalimba n'akalimi akawoomerevu.
5
Nandibadde siri eyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era ndi musanyufu nga ndaba okukkiriza kwammwe mu Kristu bwe kuteredde ne bwe kuli okunywevu.
6
Nga bwe mwafuna Kristu Yezu Omukama, awo nno mutambulirenga mu ye.
7
Mu ye mwe muba musimba emirandira; ku ye kwe muba muzimbibwa, nga muli bakakafu mu kukkiriza kwe mwayigirizibwa, nga mujjudde mu buyitirivu okwebaza.
8
Mwekkaanye, tewabaawo abezza nga yeeyamba ebya filozofiya n'obulimba omutali kantu ebisimbye ku mpisa z'abantu obuntu ne ku bintu ensi mwe yakolebwa, ebitasimbye ku Kristu.
9
Kubanga mu ye obwakatonda obujjuvu mwe buli mu mubiri;
10
nammwe mu ye mwe mwatuukira ku bujjuvu bw'obulamu, oyo omutwe ogwa buli bufuzi bwonna n'obuyinza.
11
Mu ye mwe mwatayiririrwa, si n'okutayirirwa okwakolebwa engalo, wabula nga mweggyako omubiri ogw'ennyama mu kutayirirwa okwa Kristu,
12
ne muziikibwa wamu naye mu batismu, mwe mwazuukizibwa awamu naye mu kukkiriza kwe mwakkirizaamu amaanyi ga Katonda, oyo eyamuzuukiza mu bafu.
13
Nammwe abaali abafu olw'ebibi n'olw'obutaba batayirire, Katonda yabazuukiza wamu ne Kristu, ffenna n'atusonyiwa ebibi byaffe.
14
Yasazaamu ekiwandiiko ky'ebbanja ekyatukotoggeranga n'etteeka lyakyo; yakiggyawo ng'akikomerera ku musaalaba.
15
Abafuzi n'ab'obuyinza yabambula ebyokulwanyisa n'abaswaza mu lujjudde, ng'abawangulira mu ye.
16
Kale nno waleme kubaawo n'omu abanenya ku bikwata ku mmere oba yadde ku byokunywa, oba ku bidda ku mbaga enkulu, oba ku kuboneka kw'omwezi ne sabbaato.
17
Ebyo kisiikirize busiikirize ekya kiri eky'okujja; ekituufu kyennyini kya Kristu.
18
Tewabangawo abalyazaamaanya buwanguzi bwammwe, oyo ayeerimbika ku kwefeebya n'okusinza bamalayika, alowooleza mu kulabikirwa, ayeewaga awatali nsonga olw'endowooza ye ey'obuntu obuntu.
19
Oyo tanyweredde ku Mutwe; sso omutwe gwe gusakirira omubiri nga guyita mu nnyingo n'ebinywa, olwo omubiri ne gusobola okukula nga Katonda y'agukuza.
20
Ate oba olw'okufa awamu ne Kristu ebintu ensi mwe yakolebwa mwabibeerera bafu, lwaki nno mweyisa ng'abakyali ab'ensi? Lwaki mukyagondera by'eragira:
21
“Temukwatako, temulyako, temukomako,”
22
okusinziira ku mateeka n'enjigiriza eby'abantu? Bye boogerako nno byonna ebyo bintu ebiggwaawo nga bakyabyeyamba.
23
Eby'engeri eyo bigenda ne birabika ng'omuli amagezi mu nsoma ey'okwekakamula, okwefeebya n'okukangavvula omubiri, naye tebirina kye bigasa ku kukoma ku masanyu g'omubiri.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4