bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jonah 1
Jonah 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yona mutabani wa Amittayi nti:
2
“Situka ogende mu kibuga ekikulu Nineve, oyigirize ng'okinenya, kubanga obugwenyufu bwakyo butuuse mu maaso gange.”
3
Naye Yona n'asituka agende e Tarusisi adduke Omukama. N'aserengeta e Yoppa, gye yasanga eryato eryali liraga e Tarusisi; n'asasula ebisale, n'alinnya eryato asaabale nabo agende e Tarusisi adduke Omukama.
4
Naye Omukama n'akunsa empewo nnyingi omuyaga ogw'amaanyi ne gusituka ku nnyanja, eryato ne libula okumenyekamu.
5
Abavuzi baalyo ne batya, buli omu n'alaajanira lubaale we; ne basuula mu nnyanja emigugu bawewule ku lyato. Ye Yona yali aserengese wansi mu lyato, bwe yagalamira ne yeebakira ddala.
6
Omugoba w'eryato n'ajja gy'ali n'amugamba nti: “Oli mu kwebaka bwebasi? Golokoka okowoole lubaale wo, oboolyawo anaatufaako ne tutasaanawo.”
7
Awo ne bagambagana nti: “Mujje tukube akalulu, tutegeere ani atuviiriddeko akabi kano.” Ne bakuba akalulu ne kagwa ku Yona.
8
Ne bamugamba nti: “Okola mulimu ki? Ova wa? Ova mu nsi ki? Oli wa ggwanga ki?”
9
N'abaddamu nti: “Ndi Mwebureeyi, nsinza Mukama, Katonda w'eggulu, eyakola ennyanja n'olukalu.”
10
Abasajja ne batya nnyo, ne bamubuuza nti: “Kiki ky'okoze?” Kubanga baali bategedde ng'adduka Mukama, kubanga yali ababuuliddeko.
11
Ennyanja yali yeeyongera kusiikuuka; ne bamubuuza nti: “Tukukole ki ennyanja etuyambe eraale?”
12
N'abagamba nti: “Munsitule, munsuule mu nnyanja, ennyanja ejja kulaala; mmanyi ng'omuyaga omungi guti gubajjidde lwa kubeera nze.”
13
Naye abagoba ne banyiikira okuvuga nga badda ku ttale, kyokka ne balemwa, kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi kubeesikuulira.
14
Awo ne bakoowoola Katonda, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, tukwegayiridde, totuzikiriza olw'okubeera omuntu ono, totuvunaana musaayi gw'ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Katonda, okoze nga bw'osiimye.”
15
Awo ne bakwata Yona ne bamukasuka mu nnyanja; ennyanja n'ekomya obusungu bwayo.
16
Abasajja ne batya nnyo Omukama, ne bamutambirira ebitambiro, ne bakuba n'obweyamo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4