bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jonah 3
Jonah 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Ate ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yona ogwokubiri nti:
2
“Situka ogende mu kibuga ekikulu Nineve olangirireyo obubaka bwe nkugamba.”
3
Yona n'asituka n'alaga e Nineve ng'Omukama bwe yali amugambye. Nineve nno kyali kibuga kinene, nga kitwala ennaku ssatu okukiyitamu.
4
Yona n'atandika okuyingira mu kibuga, n'atambulako olugendo lwa lunaku lumu. N'alangirira nti: “Esigadde ennaku ana zokka, olwo Nineve kizikirire.”
5
Abantu b'e Nineve ne bakkiriza Katonda; ne balangirira ekisiibo; bonna, okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo, ne bambala ebikutiya.
6
Amawulire bwe gaatuuka ku kabaka w'e Nineve, n'ava ku nnamulondo ye, n'aggyako omunagiro gwe ogw'ekitiibwa, n'ayambala ekikutiya, n'atuula mu vvu.
7
Awo n'alangirira, n'agamba wonna mu Nineve nti: “Okusinziira ku kiragiro kya kabaka n'abakungu: Temukkiriza muntu yenna oba ensolo, ente oba endiga kukomba ku kantu; tebirya yadde okunywa.
8
Wabula abantu bambazibwe n'ensolo zibikkibwe ebikutiya. Buli muntu awanjagire Katonda n'amaanyi ge gonna. Buli omu ave mu makubo ge amabi, yeemansule n'ebikolwa bye eby'obukambwe.
9
Ani amanyi? Katonda yandyeddamu n'atusonyiwa, n'aleka obusungu bwe obwesera, ne tuwona ne tutazikirira!”
10
Katonda bwe y'alaba bwe baakola, nga bavudde mu makubo gaabwe amabi, ne yeddamu ku kabi ke yali agambye okubakola, n'atakakola.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4