bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jonah 2
Jonah 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Omukama n'ategeka ekyennyanja ekinene kimire Yona. Yona n'amala mu lubuto lw'ekyennyanja ennaku ssatu n'ebiro bisatu.
2
Awo Yona ne yeegayirira Omukama Katonda we ng'ayima mu lubuto lw'ekyennyanja, n'agamba nti:
3
“Mu nnaku zange nakoowoola Omukama, n'annyanukula. Nayima mu lubuto lw'emagombe ne mpanjaga, n'owulira eddoboozi lyange.
4
Wankasuka mu ddubi, mu buziba bw'ennyanja; engezi n'enneebungulula, amayengo go n'amasingiisira go ne gambikka.
5
Ne ŋŋamba nti: ‘Ngobeddwa mu maaso go, ndiddamu ntya okulaba Ekiggwa kyo ekitukuvu?’
6
Amazzi ganneebungulula ne gantuukira ddala mu bulago; eddubi lyanneetooloola, endago zanneezingirira ku mutwe.
7
Nakkirira ku ntobo z'ensozi, emiyingo gy'ensi ne ginzigalira emirembe gyonna. Naye obulamu bwange n'obuggya mu bunnya, ayi Mukama Katonda wange.
8
Omwoyo gwange bwe gwali gunnyenjebuse, ne nkujjukira, ayi Mukama; essaala yange n'eyambuka gy'oli, mu Kiggwa kyo ekitukuvu.
9
“Abo abeesiba ku bitaliimu, balekerera ekisa ekyandibagiriddwa.
10
Naye nze nzija kutambira ekitambiro n'oluyimba olw'okwebaza; bye neetemye nzija kubituusa. Okulokola kuva eri Mukama.”
11
Awo Omukama n'alagira ekyennyanja, ne kisesema Yona ku lukalu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4