bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jonah 4
Jonah 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Naye Yona n'anyiiga nnyo, n'asunguwala.
2
Ne yeegayirira Omukama nti: “Ayi Mukama, ekyo si kye nagamba nga nkyali eka? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Tarusisi. Namanya nga ggwe oli Katonda omusaasizi era ow'ekisa, atasunguwala mangu, ajjudde okwagala, ayeddamu n'atakola kabi.
3
Kale nno, ayi Mukama, obulamu bwange butwale; waakiri nfe okusinga okuba omulamu.”
4
Omukama n'amuddamu nti: “Olowooza ng'oli mutuufu okusunguwala?”
5
Awo Yona n'afuluma n'agenda atuula ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba. Ne yeekolera awo akasiisira, n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo, n'atunula alabe ekinaatuukirira ekibuga.
6
Omukama Katonda n'asibusa omusogasoga, ne guwanvuwa waggulu ku Yona gusiikirize omutwe gwe, gumuwonye muli obuteeyagala. Yona n'asanyukira nnyo omusogasoga ogwo.
7
Naye enkeera mmambya ng'asala, Katonda n'ategeka envunyu, n'erya omusogasoga ne guwotoka.
8
Enjuba bwe yavaayo, Katonda n'asindika empewo ey'ebuvanjuba eyokya; enjuba n'eyokya Yona omutwe, n'ayenjebuka. Ne yeesabira okufa, n'agamba nti: “Waakiri nfe okusinga okuba omulamu.”
9
Katonda n'agamba Yona nti: “Olowooza oli mutuufu okusunguwalira omusogasoga?” N'ayanukula nti: “Ndi mutuufu okusunguwala n'okutuusa okufa.”
10
Omukama n'agamba nti: “Ggwe olumirwa omusogasoga gw'otaateganira n'akamu yadde okukuza. Gwalokera mu kiro kimu ne gufiira mu kiro kimu.
11
Naye nze sandirumiriddwa Nineve ekibuga kino ekikulu, omusula abantu abasukka mu kasiriivu mu emitwalo ebiri, abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, nga kw'ogasse n'ebisolo enkumu?”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4